Fred Sebatta – Obulamu Bumpi Lyrics
(Ebyalo byonna biweddemu abantu
Enju zonna ndaba bifulukwa)
Mu mazima mbagamba nti
Luno lwe lutindo lw’obulamu olutalijjulukuka
Kubanga tuzaalibwa mu biwoobe
Ate netukula nga twemulugunya
Sso; n’ojja ofa, nga tomatidde, tulabye
(Ennaku zinsanze, otuwolereze
Ennaku zinsanze, otuwolereze)
Mbadde nkusaba osiriikirire ofune bye nnyumya ku bulamu obw’ekiseera
Nina ebigambo ku mutima ebizze binnyiga ng’ate mmanyi nti naawe bwotyo
Okusooka ŋŋenda nendowooza, Mukama by’agereka ate ng’era abituusa
Yagenda n’atutonda ku nsi kuno Lugaba n’atuwa ebirungi
Naye ng’ekisinga binnaabyo kyenokoddeyo bwe bulamu obw’ekiseera
Bannange obulamu bw’ensi eno bwandinyumye nnyo naye ekibi obulamu bumpi
Ate nga n’ebiyigganya obulamu tuyina ntoko era buli omu alinayo kyatya
Kyetuva tuzaalibwa nga tukaaba mulabe n’ebiwoobe bingi
Ate netukula nga twemulugunya kati nze nange nnyenya mutwe wendi
Ensi tugivaamu nga tukyajaagala tugenda tewali amatidde ooh tulabye!
Tulabye nnyo okubeera n’obulamu bwe tukukusa obukukusa
Sso nga baaba bwandiwoomye nnyo naye w’obukweka wabula
Ate nga tulina oluggube lw’ennyimbe ezituyigganya buli wamu waliwo enkwaso
Bw’otuuka awajjanjabirwa wewuunya era gy’otegeerera nti ensi yafa dda
Bwebakuwa ekitanda n’okomawo ng’oli mulamu Katonda wo aba akuyambye
Naye wabeerawo okuddiza mu bbaluwa ekintu ekinyiga ennyo mu mwoyo
N’olowooza baaba munno wo eyagenda atambula okwetwala
Nebatuuka okumuzza ewaboobwe n’asibibwa ng’olusekese!
Nze singa ssi buyinza bwa Mukama eyankwatirako jjuuzi awo nali ndugenze
Neebaza nnyo nammwe abampagira mwawonga nnyo bannange temujjanga okwo
Mazima kaabula kata nsomoke ooh
Sibalimba obulamu bumpi buno jjukira
Nga wakedde okulowooza obulamu ate odda n’obuto n’olowooza ebitaliimu nsa
Sibalimba basajja bannange oyinza n’okufa nga buli kamu akako okatunze
Ne Mukama ate yajja n’atukisa eky’obutamanya ddi lw’olifa
Kale buli walumbe lw’akkwata omanya bumanya nti lubaze
Nebweguba musujja gw’onyooma okeera ku mpiso ku bulamu teri agayaala
Ate nga nange bw’olowooza otyo mba sikunenya kuba mmanyi obulamu bumpi
Buli muntu kyava afuba okwetaasaako kuba ddala tomanya ntuuko
Wabula ate nensaasira abasiru abatakimanyi nti buli muntu alinayo essaawa
Munno okyamwagaliza entaana olimusangayo naawe era olulwo lulikya
Saagadde ku mwoyo weerimbe nti oba gy’alaga wajudde
N’abaali batutigomya mu nsi babuze
Kati bawenjebwa gye baddukira balabye
Ab’emikwano tuyina bingi ebituyigganya mu bulamu obw’ekiseera
Wadde emmotoka gyeweegulira ekumiza omusu nootodda
Nze sitera kuyimba kye ssirabye obuggya n’effutwa nabyo kati kuliko enkwaso
Bangi nnyo tusalwa n’emisale gyotoyagadde lwa bulamu obw’ekiseera
Laba omubiri ogwali gunnyirira kati gumbunye amajirita
Nebwembeera mu basajja bannange engoye zambula nneebwala
Tulabye nnyo ne bantu bannaffe abatuyigganya obutakoma
Kyenva seerumya lwemba nzifunye nenneeriira kuba emagombe teri bwami
Bannange nga ntawanye n’olumbe nendutegeera
Nentambula amawanga nengabuna nnoonya bulamu abange yiii ensi ngitidde
N’omuntu okkulanga bye wafuna n’akuleetera ebyonziira
Sso teri aligabana Mukama kyatakuwadde ye Lugaba alina obuyinza
Neewunyizza muntu munnange bwe tukolagana ebyomunda okunkola ebyo!
Nga n’ekibanja twakirya babiri netuzimbako enju buli omu alina eyiye
Mazima y’eyaleeta n’ekiteeso ekyakitemamu nti buli omu afuneko oludda
Nemmukaka okisombera ebikuta ye neyeerema kko nze kanfube ku kyange
Olw’okuba nga kibala ebigimu ayagala anzise olw’ebintu!
Nootalowooza baana be nzadde naabaleka wa abangi batyo?
Kasita sirina kye nali nkukoze nze kankuleke okole by’olowooza
Atannaba kutuuka ku ttabu yatakimanyi nti ensi eno eriko ebikuuno
Naye omuntu ye nga yayagadde kutta n’akataayi tekasala
Wabeerawo okukulanga ekinene naye waliwo abatulanga ebitaliimu nsa
Abalala babalanga kukola k’obayitako nti aliba alaba ki maama
Olaba negwowola ssente bwe zimulemya okukomyawo azzaamu jjembe
Ate nga ne ku luuyi lw’abakazi nabo bangi abalogaŋŋana olw’abasajja
Oli n’ayonoona ebiseera n’ensimbi ajje atabangule emirembe gyo!
N’abakola emirimu gya lukale mu mu kabi mbabuulire
Obuggya n’effutwa byasukka buli wamu bibunye ensi eno
Ebyo byonna biyigganya bulamu leero tulinga bwe twanyaga obutali bwaffe
Kyenvudde nkibalaga bwe tuli ku nsi muwulire nziramu bwenti
Kyetuva tuzaalibwa nga tukaaba mulaba n’ebiwoobe bingi
Ate netukula nga twemulugunya kati nze nange nnyenya mutwe wendi
Ensi tugivaamu nga tukyajaagala tugenda tewali amatidde
Ooh tulabye!!!
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.