Artin on the Beat

Gyal, wandeka ogamba kibulamu
Kati ojja ozunga olw’okuba olaba ntereddemu
Bambi nkusaba busabi ndekaamu
Ebyange naawe wabiroberamu yeah
Obudde buzibye nina okijoogamu
Ezange nina oziryako nga nkyali mulamu
Baganda baffe ndaba asikamu omu kw’omu
Gwe akyalina obusobozi tobiroberamu yeah
Ate ndi mukozi era nkeera ne nkikyapamu
Ataakole taaliire maama y’ansomeramu
Nti mwana wange ssente yeefuga buli kimu
Ky’ova olaba era eby’okola sibiloberamu, yeah
Musaayi muto nkulembedde game
Bayaaye bampalana nefuze bi deemu
Mbabonyaabonya nga combination ya PEM
Bano mbakuba ku mutwe sibaloberamu nze, yeah

Tobiroberamu
Blood tobiroberamu
Toloba, toloba
Tobiroberamu
Eby’ensi boyi kufata
Olina okubeeramu
Ŋŋambye, tobiroberamu
Blood tobiroberamu
Toloba, toloba
Tobiroberamu
Eby’ensi boyi kufata
Olina okubeeramu

Wabula singa teyali siriimu
Singa mu bambala eby’okulwanyisa siriimu
Naye buli lwe nzijukira nti nina ochasinga dream
Awo akapiira we nkateerako sibiroberamu yeah
Mutima gwange mwana naawe baamu
Nze naawe tumanyi ebizibu laavu by’etusuddemu
Kati olabye omulala ate oŋŋamba tubiddemu
Ntiddemu nze siddamu kubiroberamu, gwe
Kampala City babuufu ffe tukirimu
Ojja n’ekyalo abaana bakikumalamu
For example bano abanyiga amasimu mu jam
Abaana baganyakula tebalobyenamu yeah
Buli omu n’eddiiniye nze ndi musiraamu
Naye nzikiriza Katonda gwe tusinza y’omu
Sabako era ofune engeri gyomwebazaamu
Nze ntya omuliro era ebintu bye sibiroberamu

Fik Fameica nze ndiko buli wamu
Ekigoma bwenkituulamu
Ne mu ddoboozi ekkakkamu
Enyonyogeze temuli abaana baazimalamu
Ba rapper mutubulamu
Wanneegayirira okkuwola nga tolinaamu
Okusasula oyagala ngyaziine nga Imam?
Bakuwaana kuluma leero walumye mukyamu
Ezange ojja zisesema toziroberamu
Akayimba kano ssi kange ka bulyomu
Enjiri eno kansabe ebune ku bulyomu
Artin Pro kuba ekigoma tuzinemu
Buli omu n’owuwe atalina weebeereremu
Wabula ex wabiroberamu
(Wabiroberamu)
Ffe eno tulya bulamu
Kati oly’eyo wejjusa ogamba singa nagumamu

Omusomi
Omutembeeyi
Ghetto yut
Kampala muwambe
N’abadde tamanyi mugambe
Fik Fameica tuzinemu ssi lumbe
Fresh Bwoy

Read Omu Bwati Lyrics by Fik Fameica ft. Patoranking

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.