Essanyu Ddagala Lyrics – Irene Ntale

Ng’enjuba bwevayo kumakya nemulisa olunaku
Ewange ofuuse ettala, enjakira mubulamu
Anti onjigiriza okwagala okutalimu kukaka mbeera
Kimpowooze, ondide obwongo
Love yo is all I want, kuba ebiseera byo nina
Kankwagaze kajanja, nze ate oba simanyi byakuloga

Baligamba omuwala yesawo, oba sikusanira
Ebyo bigambo bugambo sibiwa mattu gange

Nze ompadde essanyu ddagala
Ebyama byo ndi bikuuma
Nkuwadde obweyamu, kubanga wooli
Kankwagale essanyu ddagala
Bwesubiza nditukiriza
Nkuwadde obweyamu, kubanga wendi

Essanyu ddagala
Lino essanyu ddagala
Essanyu ddagala
Lino essanyu ddagala

Ng’omukwano bwegutalina limit
Ndi mukikumi nyongeza
Omukwano tegubola langi kabe ani gumugonza
Ebiseera byomumaaso ebya katwezimbe, tubirongose
Nze nakufumbira ng’ebiyidde kwolirya paka nga ozeyuse
Baligamba jajja ayagadde munne, ensi ebawomedde
Mubuli mbeera ka nkume endagano yange

Nze ompadde essanyu ddagala
Ebyama byo ndi bikuuma
Nkuwadde obweyamu, kubanga wooli
Kankwagale essanyu ddagala
Bwesubiza nditukiriza
Nkuwadde obweyamu, kubanga wendi

Essanyu ddagala
Lino essanyu ddagala
Essanyu ddagala
Lino essanyu ddagala

Nze ompadde essanyu ddagala
Ebyama byo ndi bikuuma
Nkuwadde obweyamu, kubanga wooli
Kankwagale essanyu ddagala
Bwesubiza nditukiriza
Nkuwadde obweyamu, kubanga wendi

Essanyu ddagala
Lino essanyu ddagala
Essanyu ddagala
Lino essanyu ddagala

Submit lyrics

More from us






📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.

Share this

Newsletter Updates

Enter your email address below to subscribe to our newsletter

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *