Radio
Tunula labayo omukwano
Bwe gutandise okumenyeka
Enkovu ezaali ziwonye
Ozizzeemu n’oyuzaayuza
Weeruma n’olulimi jjuuzi wano nga twogera
Mbu abalungi baggwaayo ogumidde ku nze
Omuntu omu
Singa nali nina amagezi
Agakulekawo ne bikoma awo
Gano amaziga ge nkukaabira
Ne neefunirayo agasangula
Okwagala nnaku obulwadde
Olukukwatako tebiwona
Mazima obeerera ddala
Ng’eyalwala kookolo okulemala, aah
Tuula twogere omulundi gwe gusembayo
Nzijukiza olunaku mu ddoboozi lyo
Nnyimbira akayimba akaali kaliko ooh, yeah
Radio
Ennyimba z’omukwano zinnyiiza
Ziwaanawaana nnyo abaagalana
Ne bwe nziba amatu era zinnoonya
Simanyi oba leero naakeesa!
Nakyawaganye ne gwe twagalana
Anyiiziizza omutima gumpalana, eeh
Weasel
Lemme say yo!
Wandeka ttayo waŋŋamba wankyawa
Laba obuyimba bw’omukwano bwonna ne nkoowa
Eyalinga sweet wange wabisiba n’ogenda
Waŋŋamba wankoowa
Nzenna ne nkogga
Engoye tezintuuka
N’ekiro ssikyaloota
Ebirooto bya ntiisa
Olimuggya wa omulungi ansinga?
Bwe nkugambako amatama n’ozimbya
Ne Mungu yampima kale mu basajja nze asinga
Gye mpitaayita abakyala bansiiya
Wewe y’eno essaawa zuukuka
Obudde budduka eno essaawa zidduka
Baby wange ekyo ekyejo kimala
Jangu gye nsula emirimu otandike okugikola
Radio
Ennyimba z’omukwano zinnyiiza
Ziwaanawaana nnyo abaagalana
Ne bwe nziba amatu era zinnoonya
Simanyi oba leero naakeesa!
Nakyawaganye ne gwe twagalana
Anyiiziizza omutima gumpalana, eeh
Radio
Mukwano sirina ssuubi walala yeggwe gwe nina
N’abali bansaba date beerekerayo nabamenya
Aah ng’obadde onjagala ani atamanyi?
Wanzigya ne ku mmeeza
Wansalamu mu kifaananyi, yeah yeah yeah
Kino, naawe olinoonya abakutuulira ne babula
Nga nze akwagala onsudde awo
N’owakankula abaalemwa
Nina essuubi gy’oli, you’re part of me
Gwe ne bwe neebaka
Ne nnemwa okuzuukuka
Kankutonere akalabo olirabangako
Ojjukire akatebe ke natuulako
Okwagala kuba nkulaba bwe kusaanawo, yeah
Radio
Ennyimba z’omukwano zinnyiiza
Ziwaanawaana nnyo abaagalana
Ne bwe nziba amatu era zinnoonya
Simanyi oba leero naakeesa!
Nakyawaganye ne gwe twagalana
Anyiiziizza omutima gumpalana, eeh
Read: Hellena Lyrics by Radio And Weasel Ft. David Lutalo
Share: Ennyimba Zomukwano Remix Lyrics – Radio & Weasel
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.