By using this site, you agree to the Privacy Policy and Terms of Use.
Accept
Musiclyfer
Aa
  • Music
  • Lyrics
  • News
  • Biography
  • Trash
  • Upload
Reading: Ennimiro Yokubuganga Lyrics by Herman Basudde
Share
Aa
Musiclyfer
  • Music
  • Lyrics
  • News
  • Biography
  • Trash
  • Upload
Follow US
© 2023 Musiclyfer. All Rights Reserved.
Lyrics

Ennimiro Yokubuganga Lyrics by Herman Basudde

By lyfer Published November 9, 2021
Share

Olwaleero twazze bulembwe
Ne Mr. Guitar emitwetwe ne muggyayo
Tutandike okuba ng’abanyumya
Sso nga mu butuufu nsomesa
Mugenda ne mugamba abantu
Nti oyo tayimba yekunkumula
Vvaawo mulijjukiza nammwe abalogo
Ne banzita mufiirwe omuntu
Gwe bw’obanga onsiimye ojjanga
Nga ndi wabbali eyo emmanju
N’onsiimira mpola mu nkukutu
Abalogo bagaane okumanya
Tokaayana gwe bw’oba onjagala
Munno akuliraanye akosebwa
Eno ensi bwe yabeera kuva dda
Ku jajja Adam mukwate ebitabo
Era bwe kityo tekigenda kufuuka
Ku nsi tutambulako twegendereza
Nze mukwano gwange asinga
Y’ono guitar amanyidde ebizibu
Mbaagala nnyo nammwe abalala
Kye nva situula ka beerabira
Nkeera ne ntabaala emiruka
Mbanoonyeze ebizimba emyoyo
Naye muteekayo nnyo emyoyo
Kanninde mumale okwetegeka
Kuba sisuubira baddiramu
Kyonoosubwa kirinde olulala
Laba abatammanyi babuuza abaliraanyewo
Nti ani mwanawattu ayimba?
Sirina nsonyi ngya kweyanjulayo
Mbawonye tebabalimba olulala
Yenze Semakula ow’Olugave
N’erya Herman nalyo nkyalirina
N’erya Basudde Kasangwawo
Mmwe ly’eritera obanguyira

Bwendi teacher tunaazuuzumba
Bantu mubaddeki abafuuse ebisolo?
Teriiyo munno ku nsi olimba
Tukkiriziganye nti oli omu
B’oyita mikwano gyo naakalyako ani
Bw’oddayo obawenje obubugo
Munda wandisangayo ate ebirala!
N’okkiriza ntino ntunula
N’emikwano egiwangadde ennyo
Gy’egyabankuseere kyewuunyizibwa!
Naye nnabe emazeewo abantu
Bya nfuna musajja atuzisa
Tuggwaawo baana battu obulemu
Buvudde kw’afunye alabe ng’alya omu
N’ekikamudde mwembi entuuyo
Asooka okinoga akwekweekeerera
Bw’aliiraliirako mu nkukutu
Ky’ava akunnyula alabe ng’ovaawo
Awulule ng’abwebwena
Nga teri amugambako nti okolaki?
Ekintu ekyo kimazeewo abantu
Temunnaba mukyaziika nnyo
Ndaba nkumu abalinze entaana
Nga bye baakola bifuuse obusagwa
Nze eddako nabanga mpakana
Nzikirizza bwe zaabanyoola akuzisa!
Tusabire abafu lwa nsonga
Bangi balangwa byabwe osanga

Ne gwe banyaze akukkuluma
Naye bw’afuna obulungi omuzirakisa
Munyazi byakkuse onobisiba
Laba ensi bw’esigadde matongo
Ssiyimba baana battu nnanga
Ate mmanyi okulingiriza ennyo
Gyebujjako mulinde birango
Ku bye ndaba kisambye eddagala
Akukyaye bw’olabanga asituka
Nawerekera akubanja okimanya
Nti ovudde mu kulyako akatono
Kaakati kufuuse kusiiba

Nga twalima bulungi ennimiro
Nga buli agiyitako akungiriza
N’ejja ebala emmere eby’ekitalo
Amatabi ne gakweya obulevu
Nze nali nanoonya abalimi
Munnange ye y’eyanoonya abaguzi
Amakungula ne gasukka okunyuma
Nze ne nzija nkoma awo okumanya
Bw’oba gwe baana battu okola ki?
Mukkirize ssitudde mirembe
Kasita nalimanga mwerorera
Mwalaba bwe nasaawa essagazi
Eyali alatta ye awulula
Basajja be bagezze bisakiro
Nze musajja wo nkoozimba
Emirerembe mugirinde ndayira!
Lwakuba nnyumya ng’olugero
Bwekataligirya oliŋŋamba
Wano waliddawo era essagazi
Nga bwe twalisanga okujja
Ogusiko gufuuke ogusiko
Ffenna tuddemu era okusaka
Omugezi alime oba awalala?
Naye ennimiro engatte enyoola!
Sso eyanguwa okugittaanya ennyo
Kubanga mulima mwejjukanya
Amakungula ne gasukka obuzibu
Bw’olima n’eyayinga amaddu
Okuggyako okufa okwa mangu
Kwe ninda kye mmanyi ng’empeera
Bwessirifa ndisaawa awalala
Musajja wo manyi nnyo akasimo
Okufa nkyogerako nga nkiddiŋana
Ndabye nkumu abafudde ebintu
Naye ate ne ŋuma lwa nsonga
Bw’oba ogoba musajja munno olekamu
Nange ssirituula ntende
Ekibanja kye ndeseewo olwembi
Nakyo kikyanogwamu emmwanyi
Njagala gufuuke ogusiko
Nga n’atemako bw’atuuka eka
Kakenge n’amusimba akawago
Mulijja gye nnimye eno okusaka
Nange ne nsasanga abalala

Ngya kwogera kuba nkyasobola
Ntuuke okufa ndage mu ntaana
Nga nnyini ttaka ategedde ensonga
Nti abasenze tetutudde mirembe
Ne Mukama yayamba buyambi
Ne tukome kugatta ennimiro
Tuba kugatta wasulwa era simanyi
Nti singa akalangiti nkyakalina
Gwe laba nsula eno Ggobero
Ye munnange naasulanga e Kitemu
Naye ne mu maka nyingirirwa!
Anfumbira aliwo ku lusuubo
Gwe ate oli maama bw’akwavuwaza
Nga ne maka totwala buyambi
Eby’amaka bifuule olugero
Abakazi baagala oyo alinawo
Kyokka baana battu obuzibu
N’olima olabe ng’ovaayo
Amakungula ne gabaamu omunyago
Kalenzi wo alifuuka ennanda
Agalenzi ge yapiika omwenge
Agasituzi g’ensawo omubeera omunyago
Ganaatera kubuuza we mpise
Gasime ngwe mu bunya nga nkomawo
Kati bwe mbaako gye nzigiddwa akalimu
Ŋŋenda mu nkoko gwe ate
N’amadda ne mbulinda okuziba!
Ngira nzisa ku tukka otutono
Abaganda baagera no olugero
Nti Kabaka tatta naye
Agalenzi agawujja omunyama
Munnange ge gasaakiriza
Nga geegula gabeere maganzi
Tegava we bawujja omunyama
Wano nze wenatiira omunafu
Omunafu mu butuufu alya nnyo!
Ndifuna ekisambu ekirala
Ne nnima mpola nga ngimusa
Abanafu abalinda ewedde
Mulinjula mpuludde bibimba
Abanafu abalinda ewedde
Mulinjula mpuludde bibimba
Buganga ono lyali ssagazi
Ne nkunya olukende okulima
Liriddamu lifuuke essagazi
Omwana wa Namyalo ndayira
Mugennyini lifuuke eddungu
Nga bwe twalisanga okujja

Bingi ebitubuzaako eddembe
Naye nga ba ndya abange ŋenda
Oba ka mbayite ba nyuunyunta
Abaabulwa ku maanyi agalima
Gwe twatuma okunoonya abaguzi
Nga ne gwe nalima naye afaanagana
Bwe badda n’omusimbi ogwavaamu
Ne bagabanira mu nkukutu
Abantu abo ne Kaseere e Kkooki
Baamulesa ekibanja kiramba
N’asenga mu Buluuli ekirala
Kati lw’aliko ng’omuntu
Ate omubbi tagenda kumatira
N’e Kkooki baalemwa dda ebyayo
Abamu babalabako eyo Busujju
Omulala akola eyo Bukunja
Abamu mbalabako eyo Busujju
Omulala akola eyo Bukunja
Kale bakulesaawo ennimiro
Bw’ovaawo ne gufuuka ogusiko
Bwe balaba gususse okuzika
Ne badduka banoonye attizza
Nze na kaakati nkukkuluma
Ne gwe nalima naye ono munenya
Naye ba luleba bbo nsussa
Okwagala okulya ng’abalima
Buganga ono ogwali ogusiko
Ne nfunya olukende okulima
Kiriddamu kifuuke ekibira
Nga bwe twakisanga okujja
Obutooke buddemu okoozimba
Na luno lunnyo lwa ku Buganga
Okuva edda waabalanga lumonde
Nze nali mbazaako ettooke
Kuba natemeranga ensukusa
Ng’ebikuta mbisomba Nteetwe
Ne mbewuunya okwerabira!
Omuntu eyagoba olunnyo oluzibu
Bwekataligirya oliŋŋamba
Ssirituula ka ntobo kukkalira
Mpozzi nga kitange Omugave
Akyuka tweddirenga eŋŋaaŋa
Ndiwummula akasanke akatono
Okasanze keebagazze ettutuma

Njogeddeko ebisinga obutono
Ebirala mubirinde luli
Ng’entuntunu zifuuse ensaali
Lwe mulimanya nti nnanga
Ssembeguya gwe ne Nakalaama
Mujjanga ne muyamba emirimu
Wendiba nfunye ekisambu ekirala
Nga gye nsaawa gye musimba ensujju
Ze zanguwa era bw’oba omuyala
Z’osoosa w’olimye lwa nsonga
Olulanda ne zisuula obuntu
N’obuguju obulya ng’oli bubi
Kalimanzera nkuwadde omulimu
Nnoonya ensigo ezitaggya kuwumba
Kuba enkuba oluba eti okukka
Ng’abanaku tukunja migongo
Gwe muka Kaleebo nkusaba
Tandika okunoonya obusimo
Obunaasiga emmere eno esooka
Zino ennene zinaakoolanga
Tulyoke tulabe ate omuzira
Alijja n’atuyamba okusaka

Tulyoke tulabe ate omuzira
Alijja n’atugamba okusaka
Tulyoke tumubuuze ensonga
Gye twalima kwe kyava eggwewo
Nnyimbye mutegedde abantu
We nsula nsula nkukkuluma
Nga n’ekivuddeko eyo ensonga
Ennimiro yafuuka ennimiro
Kati musaana kwegendereza
Omukwano ku siringi mpaawo
Bw’olabanga bwe mwali akugeya
Awo dduka ogire ng’obaawo
Bw’oliremerawo gwe mbuyaga
Ndabye nkumu abafudde ebintu
N’abamu tebanatuggwa ku myoyo
Abalala balwadde bayi
Kyokka ennimiro y’obuganga
Kansirike ndezze ekimala
Naye bwe walibaawo ekintu
Njogedde temugamba omulala
Kati nasenguseeyo e Ggobero
Ne we nsula ssikyawogerako
Nnyingira kiro nga nsowera
Ne nkeera mu nkoko ng’akanyonyi
Mwebale abataddeyo nnyo omwoyo
Mwebale na kunkaabirako
Bwentyo bwe nsula nkukkuluma
Omuntu eyanoonya eddembe!!

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.

TAGGED: Herman Basudde Lyrics
Share this Article
Facebook Twitter Email Print
Previous Article Abankuseere Lyrics by Herman Basudde
Next Article Bus Dunia Lyrics by Herman Basudde
Leave a comment

Leave a Reply Cancel reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Trending

Influencer by Feffe Bussi
Influencer by Feffe Bussi
Music
Singa Lyrics by John Blaq & Lydia Jazmine
Singa Lyrics by John Blaq & Lydia Jazmine
Lyrics
Tina - Shawn Maine ft Joshua Baraka
Tina – Shawn Maine ft Joshua Baraka
Music
Ebiseera Ebyo Lyrics – King Saha
Ebiseera Ebyo Lyrics – King Saha
Lyrics
Maama Lyrics – Judith Babirye
Maama Lyrics – Judith Babirye
Lyrics
Beere Ddene by Wilson Bugemebe
Beere Ddene by Wilson Bugemebe
Music
Kenzo begs to meet Bobi Wine
Kenzo begs to meet Bobi Wine
News
I do lyrics by Jose Chameleone
I do lyrics by Jose Chameleone
Lyrics
Geosteady - Lovenjitis
Geosteady – Lovenjitis
Music
Singa by John Blaq & lydia jazmine
Singa by John Blaq & lydia jazmine
Music
Subscribe to Our Newsletter

Subscribe to our newsletter to get our newest articles instantly!

You Might Also Like

Singa Lyrics by John Blaq & Lydia Jazmine
Lyrics

Singa Lyrics by John Blaq & Lydia Jazmine

May 30, 2023
Ebiseera Ebyo Lyrics – King Saha
Lyrics

Ebiseera Ebyo Lyrics – King Saha

May 21, 2023
Maama Lyrics – Judith Babirye
Lyrics

Maama Lyrics – Judith Babirye

May 14, 2023
I do lyrics by Jose Chameleone
Lyrics

I do lyrics by Jose Chameleone

May 2, 2023
Musiclyfer
Follow US

© 2023 Musiclyfer. All Rights Reserved.

  • Cookies Policy
  • Privacy Policy
  • Terms and Conditions
  • Tip Us
Welcome Back!

Sign in to your account

Lost your password?