Engo Y’ekiggwa Lyrics – Fred Ssebatta
Buli muntu alina embuzi
Kati andage gye zinaaliira
Ŋambye abalina embuzi eyo
Mwogere gye zinaaliira
Nasooka ne mbatemyako
Nga buli omu awuuna buwuunyi
Nti ku kyalo kye nasenga
Mu kiro neekanze engo
Olwo abakongojja emmandwa
Ku mitwe bajja misinde
Era ne mumboggolera
Mbu ngireke ngo ya kitundu
Yetuulwako Jajja Kitenda
Ne mundaga n’ekiggwa
Nti mwesuula nga zinaawuuna
Era ne munkomereza nti togeza n’oginonooza
Bwe nkyali mupya ebya kuno mbite
Naye kati buli muntu alina embuzi akaaba twawa
Anti engo ne bweba ya kiggwa
Sewambuzi agibendegera
Okuvungisa obutonde kya kabi bakama bange
By’ebyeneena by’olaba mu nsi
Okuddira engo ezitalundwa zikuume ebisolo ebweru
Newuunyizza abantubalamu!
Mbu nebweyitako bweti mu luggya buba bugagga
Okumanya nga baayagala engo
Mbu n’ababbi abagezaako banyakule ebazza ntyagi
Era mbu n’akabi nga kanaagwa esooka kaaba
Kye nava nsirika beetoloboggye
Olaba baagituuma n’erinnya erya mukuuma baana
Sso ng’ebalera ebisse ku maddu
Kko nze lw’eriggyayo enjala
Lwe balimanya ekitiibwa ky’engo
Aliba abaleze alidda na mabwa
Anti engo ne bweba ya kiggwa
Ba Sewambuzi ebasooberera
Engo nga yakkuse teba na ttabu mwanawattu
N’embuzi egiwunyaako eti ku mumwa
Naye nga tennalya togezanga n’ogimanyiira
Olibeggyereza egudde mu kibya
Ne jjuuzi embuzi ya Lukanga gye yalya mwabiwanuuza
Nga bw’eriko omusambwa ku jjoba
Mbu ne Ddungu obutayiggako ky’ekireese ebyo
Bye babumbirira saabitegeera
Nga n’ewa kanyumiza awaali enkoko adaaga budaazi
Okusanga etakula mpozzi mayuba
Yiiyo no ebeeyinuza mbu ya waka
Erumba biraalo mulyekanga ekumbye na byanzi
N’ente ezikamizza bw’ezibaka eyonka buyonsi
N’agakayana neetesigaza
Twalumba nnyiniyo ajje awongerere engo gye yaleeta
Bye yanziramu byankuba wala
Mbu engo ne bweba ya kiggwa
Taligifumbira nkenene
Mmwe abaleetereza ebyetere
Mu bika muba bakyamu
Eby’okufuna byabasenkenya
Laba omusajja bw’ampa bwiino
Ku muggo kanaaluzaala
Nti munnange saaleeta ngo
Wabula yali musajja musenze omuzzi nga gwe
N’ajja asuula omuggo ku kiggwa
Nange olwagulondawo nkube essota gwavaamu ngo
Kyeva yeemulula n’edda ku mugga
Wabula ng’abasena amazzi ku luzzi tebawuuna
N’abekitundu baakyewuunya!
Mpozzi baagiloopako emitala eri ne ssibitwala
Nze ne mbayita abantu balamu
Naye jjo ly’abalamu naffe kennyini yatusobedde
Yazze n’endiira omwana mu luggya awo!
Kko nze ani yabagamba
Nti omuggo guba gwa nalonda
Mmwe mwaba mutya abatalengera?
Engo ne bweba ya kiggwa
Sewambuzi agibendegera
Laba laba amawano
Okwagala okufuna eby’ekika yabyonoona
Abaatuulanga entende buli omu yewunise
Tamanyi kinaddirira
Guno muggo gwa ngeri ki?
Oba wagujja mu nnyanja
Ojje oddeyo oguwongerere
Okwo kwe kwesiga amangu
Sso nga ne betweyabiza balina ebigendererwa
Mwekkanyenga abantu nga tulonda ababaka
Waliwo abafuuka engo
Ng’avuubiise eggaati
Nende yeefudde atamanyi bye twamutuma
Buli lwe weesiga omuyala
Bw’aba asiba empombo ateekamu bigumba bisa
Ogwo mulugube nabakyi?
Okwegaana ennono yo tukulinze lw’olidda
Mwekkanyenga abantu nga tulonda ababaka
Ng’avuubiise eggaati
Nende yeefudde atamanyi bye twamutuma
Buli lwe weesiga omuyala
Bw’aba asiba empombo ateekamu bigumba bisa
Ogwo mulugube nabakyi?
Okwegaana ennono yo tukulinze lw’olidda
Empungu terya bire
Tubalinze
Lwe muliwenja obululu
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.