Listen & Download

Intro
Gulu(Pull it)
Gulu Gulu
Story ye Gulu
Yes!
Sibuli agenda eGulu mbu aba agenze mugulu
Nebwaba alabye mr Gulu
Ekyo Kitwale nga kikulu
FBM Feffe Bussi

Verse 1
Kabaka mu rap master nga Jet Lee
Feffe Bussi wo muko wa Nubian Lee
Bino mbyogera sitidde nga ndi free
Maama yankuza angamba biino ebyensi temuli
Once upon a time twatandika association
Ba superstar twegasse ne determination
Tufunye meeting operation wealth creation
Mbu bagala kyussa music industry yeeno Nation
Twali tumanyi feena tuli ku one mission, vision
Kumbe abalala balina ezabwe intention
Gwe agagala osolovinga Gulu equation
Nakatandika tega amatu, you pay attention
Yes! Okugenda E Gulu bakuwa nsale saale
Security tight okutuka ku Saleh Saleh
Abaamu banona yo sente babale
Eno verse one linda verse two nze nyonyole

Chorus x 2
Luno lwelugendo lwange(Gulu)
Kano kekaboozi kange (Gulu)
Wulira akaboozi kange (Gulu)
Ku lugendo lwange (Gulu)

Verse 2
Yo!
Lwali lwakutanu kumakya sawa bili
Tutudde munziga ne Pallaso babili
Tunonye Weasel paka wa Chamili
Ne Bafana yetegese asaze akaviri
Kabako ne Saha bo baliwo awo kubali
Nga bwetulindako naabalala ba chali
Esimu yavuga okuva ewa Sylivia Awori(musimbudde) ko ffe katwesoge egali
Olugendo lwa Gulu lwali luwanvu
Kwolwo Kabako ye yajira mu mpale mpanvu
Abamu ekibatute mbu kuwona bwavu
Abalala ebinyiza mu industry biwanvu
Tuvuze akatemerero gatandise otubuguma
Tugude mukiido Batuyimiriza e Karuma
Masimu gakubye mbu waliwo bano abaaze
Ba star order neva wagulu mbu bajje
Awo tuyisewo paka Gulu mu town
Tufunye wetupowa Hotel Acholi Inn
Tutumiza ebyokulya balese Chips
Tuyombye anti baludewo oleta drinks
Eno ba waitress bwebatusaba Pics
Bwe betala bwetutyo paka mu pillow mbisi
Tewerabira ekyatutute yali meeting
Berako third verse wi yuh proceeding

Chorus x 2
Luno lwelugendo lwange(Gulu)
Kano kekaboozi kange (Gulu)
Wulira akaboozi kange (Gulu)
Ku lugendo lwange (Gulu)

Verse 3
Yo!
Nali manyi abayimbi bazukuka late
Olunaku lwa meeting abantu bakela ku gate
Okukakana bakirizako abamu abalala babaganye
Ela abalala balindira mu hoteli banaye
Telwalwa meeting nga etandika na biddi
Amaaso gange ngenda okulaba ndaba Ragga Dee
Fina masanyalaze ali mabega wa Cindy
Big eye ne King Micheal simanya ndaba bulungi
Ronald Mayinja naye yali yazze mu suti
Nga yebise yena yena alinga ali mu kabuti
Nafulumamu wabweru nze nensoka nseke
Nga ndaba twogera General ali kukasigala ke
Tumugambye Tumunyonyode Ensonga za Copyright
Atugumiza mbu kyebaliko kijja kuba Alright
Laba bwatugamba Ku One Music Center
Netumubuza mwebuza kwani nga mubileta
Ffe baa stakeholder
Ffe baa sharedolder
Ffe abamanyi byetwetaga ogwrowinga stronger
Okukayana nekutandika
Wire zivudeko
Ragga Dee bamusomedde bweyewozako
General atugambye mbu yasasula E-Concert
Tuyimbile ku TV batusasule tuwone poverty
Netumugamba boyi gwe boziwa batuba
Sitya loss nze mwana nebwebanziba

Chorus x 2
Luno lwelugendo lwange(Gulu)
Kano kekaboozi kange (Gulu)
Wulira akaboozi kange (Gulu)
Ku lugendo lwange (Gulu)

Outro
Yes!
Kutambula okudda kunyumya
Waliyo ne Partie Tasha ayagala manya hoo!
Yenze Feffe Bussi wo, bwowakana nkuwerawo

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.