Elly Wamala

Emiriina erinnya lye
Njagala lituumibwe omwana wange
Emiriina tukimukolere
Ategeere nti tumwagala
By’atukoledde bingi tumwebaze
Okuva kukuzaalisa
Okutuuka ne ku zino engoye z’azze aweereza
Ndowooza ekirabo Emiriina kye mmuwa, kimbuze
Kyenvudde nsalawo okuddira erinnya lye
Ndituume baby wange

Sikuduumira buduumizi
Ndi musabi ajjudde okwetowaaza
Emiriina lumu walibaawo
Lw’alijja okutukyalira
Agenda kukimanya nti tumwagala
Atukolere na bingi ebirala
Bw’aliwulira, ng’omwana tumutuumye linnya lye
Twefunira Emiriina twafuna omuntu, owokutuyambanga
Eby’akabwa eby’okusimba ennyiriri
Binaabanga bya kufuma

Muntu wa mpisa
Muntu wa kisa nnyo
Nsazeewo omwana wange
Atuumibwe Emiriina
Abe Emiriina ono Emiriina ow’e Nsambya
Emiriina ono Emiriina ow’e Nsambya

Emiriina muntu wa mpisa
Muntu wa kisa nnyo
Nsazeewo omwana wange
Atuumibwe Emiriina
Abe Emiriina ono Emiriina ow’e Nsambya
Emiriina ono Emiriina ow’e Nsambya

Emiriina bwe ndyogera
Njagala oleme kukuukako wire
Omusamaliya omulungi
Alinga ng’oyo akyava wa?
Ekinkanze ndabye nti tokyamumanyi
Amangu ennyo neweerabira
Nti singa Emiriina teyajja n’akuzaalisa
Kwandibadde kufa, kubanga ffembi
Twali baana bato
Nga kyotomanyi nange sikimanyi
Tulinga ebinyonyi ebito

Emiriina yakukola ki?
Abalala b’azaalisa bamwagala
Bensanze bonna bamutenda
Bamuwa ssaala ez’emikisa
Eyandisinze kale okumwebaza
Ombadadde nnyo nootomanya
Nti ombadadde, olimwagalira olukedde
Oteeka wa bwereere, mukazi wa Katonda
Talina nno na musango
Nsazeewo okuddira erinnya lye
Ndituume baby waffe

Emiriina muntu wa mpisa
Muntu wa kisa nnyo
Nsazeewo omwana wange
Atuumibwe Emiriina
Abe Emiriina ono Emiriina ow’e Nsambya
Emiriina ono Emiriina ow’e Nsambya

Emiriina mwagala
Nsaba omutwale nga mwannyinaze
Saagala oddire ebya nsimattu
Ebimukonjerwa obiwulirize
Seeganye oluusi bwe tusisinkana
Ansanyukira nnyo n’aseka
Bw’asinda ennyonta eya beer ŋŋenda nemmuwaamu
Abajja bavvunulamu amakulu amalala, bannyiiza
Gwe kale otoola otya love eya plato
N’ogimetteka ettaka?

Emiriina bw’ajjangawo
Nsaba weetale nnyo omwejagire
Emiriina aliba azze wuwe
Ng’ajjiridde kimu kulaba mwana we
Ky’aliba asanze awaka akirye
Akava akaliwo k’osiise
Oba kanyama, ng’omuwa ng’asikaasikanya
Asaana asikaasikanye alye buli ekiriwo, tomumma
Oyo mutwala nga mwannyinaze ddala
Newandibadde nga wa Ndiga

Emiriina muntu wa mpisa
Muntu wa kisa nnyo
Nsazeewo omwana wange
Atuumibwe Emiriina
Abe Emiriina ono Emiriina ow’e Nsambya
Emiriina ono Emiriina ow’e Nsambya

Emiriina muntu wa mpisa
Muntu wa kisa nnyo
Nsazeewo omwana wange
Atuumibwe Emiriina
Abe Emiriina ono Emiriina ow’e Nsambya
Emiriina ono Emiriina ow’e Nsambya
Emiriina ono Emiriina ow’e Nsambya
Emiriina ono Emiriina ow’e Nsambya
Emiriina ono Emiriina ow’e Nsambya
Emiriina ono Emiriina ow’e Nsambya

Submit lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.