Herman BasuddeHerman Basudde
Herman Basudde Lyrics
“Ekyali Mu Ssabo”

Okuva awaka nabadde nkimanyi
Nti mulinze nnyo anti nabamanyiiza
Okubawa eby’omuddiriŋŋanwa
Nina omutwe oba abalabi
Mulowooza ki gubangako oba omunene
Wadde ne gubaako amasiga
Mwandirowoozezza nti by’ebifo
Omubeera ebinyuvu byenfundukula
Asaana atendwe Mukama
Yankola ng’ayagala, n’anjooyoota
Waliwo abanyiize mbalaba
Nti neewanye nnyo
Naawe bw’olivaamu ebinyuvu olyewaana lulwo
Bakama bange kaakati nsaba muteeke emitima
Omanyi biri byo naleka
Ebya baka bandi be nabuulizaako omusawo
Ate nga n’omukyala yanoba
Nembeera muwulu nga nemu luggya
Ekigere olaba kintutte
Mpozzi n’amadda nga nva gye ngukoona
Omubissi nfune we mpummulira
Nalaba nfa obunaku
Nembuuliriza oba eriyo awanaava omukazi
Nentabaala emitala nga buli we ntuuka
Nti oyo kaakutwala nkusese oli wa kukuuma nju
Nempumpuguma ddaaki nembivaako
Nti owa naabeererawo
Naye obuwuulu nabutya
Nga lwesinywedde ku mwenge
Ennyumba eba ng’ekkanisa n’ezimbagala
Kwekwevaamu nzuuleyo ewanaava omusawo
Mmwegayirire ampe amagezi
Oba yirizi oba kati nnoonye omukazi
Nemubuuzabuuza abamanyi
Entemya bbiri nga ndagiriddwa omusawo eri e Kawolongojjo

Enjuba okuvaako oluliba
Nga nze ndi mutaka gyendagiriddwa omusawo
Ntudde nninzeeko andagule
N’abalwadde abalala awo nebatuuka
Wamma netuweraawerako
Mpozzi kye neewunya nga n’abasinga bakazi!
Bweyavaayo atusabye tulage wammanju
Eri essabo omubeera abakulu
Nensaayirira nnyo obugere
Nsooke ku mwanjo ansookereko ampe omukazi
Fenna ne tutereera ku buliba
Netwetooloola okuggyako awatuula omukulu
Oluggi olutuleese alutabye
N’atindikirako embugo ezikutte obukuku
Nga mpaawo kamunyeenya okulaba
N’akatadooba akaalimu akawuzze ekibatu
N’oluyimba n’akoleeza eh eh netumwanukula
Ate nze ku bikwata mu ndago kusindika asitamye
Twayimbamu bbiri ezibakoowoola abakulu
Amayembe negavaayo okuzina
Twewombeese wamma twanirizza abakulu
Laba ate bwegasooka omukazi
Eyaloopa muggyawe bw’amubuzizza amasanyu
Kw’oyo negawaawo amagezi
Gamutte aveewo nga mwe munaaba amagezi
Awo ne gayoyaawo akabuzi, nga bw’amala okufa
Emitwalo gyago etaano agikeeza nnyo
Bwegantuukako neganzizaamu olulasi
Gaŋŋamba okumpa eyirizi
Nga gyempitira abampembejja nze mbagoba!
Mwe naafuna abasinga obusava
Nga ntwala waka nga n’obuwuulu mbuwona
Olwatubuna ne gookya omusubi
Ne tulinda nnyini ssabo
Atutungire yirizi ziri tugende twefeeko
Neneesunga nnyo, ne njaayaana
Neetema nnyo engalike, nti nemufuna
Ngya gula ogute ate ogulume nje mpongerere

Nnyini ssabo yali ng’omugule
Mukugaba eddagala osanga nandibadde ŋŋenze
Omanyi gwawa y’abuzaawo akabina
Tuba tukyalifuna tusigaddewo nga babiri
Nze n’omukazi oli eyajja
Okufuna eddagala eritta muggyawe oli amuwone
Netulengera ajja omukazi
N’ono omukazi neyeekaliriza nnyo amulabe
N’abikubamu nnyo ebibatu
N’agamba nnyini ssabo nti omukazi ajja omulaba?
Ye muka baze gw’ompeera eyirizi
Oba ani amulaze eno lye nakutte ansange!
Kye twava tumuwaawo amagezi
Yeeyongere ebbali atindikirweko ebigoye
Nnyini ssabo yali ng’amugumya
Nti nze nkutte kino kitoni nnyo okukola
Kati gwe tonyega nze ndagula
Bw’anaagenda ng’osowokayo eri mu bigoye
Leka nemmulyako ensimbi
Nga n’eddagala mmuguza eritajja kukola
Bw’anaaba agenze, nga gwe nkufunira liri
Lye wazze okunona olidda n’ontenda!

Omanyi nze nnyumirwa nnyo amabinu
Kyenva ntuula nensimbira ddala eri olukono
Bwatuuka n’atereera ku kaliba
Tumulamusizza oluggi teruludde
Alutabye enkuuka ezzeemu
Y’ono omukazi yali wa kalejja omulalu
Amayembe bwe gavaayo okulaba
N’ageesooka n’agalaga na nnyo okunyolwa
Nti baze alina awo olukazi
Lunjeezezza era nabeerako nze omunene
Ennyama yanzigwako nalaba
Gw’ate olukazi mu nju lweyita nga kabaka
Ye nze njogera ntya weluli?
Ne baze lwamuloga alowooza ku lwo oluzimu
Bye ndabye ku lwo nga binene!
Saagala lufe njagala lujeere ndulabe
Oba lugwa ddalu gw’okimanyi
Nkikulekedde jjajja lutambule ng’omusana
N’abaana beluzaala obagoye
Awo ndireeta n’ente bw’olibeera okikoze
Na kati siruleseeyo nkimanyi
Lwawumpugumye dda nnyo
Gyerunoonya abasawo by’ebindeese

Omukazi yagumira nnyo mu bigoye
Naye bwegutuuka ku baana awo
N’agugunga omutima n’acankalana
Teyalinda mayembe kwanukula
Oli omukazi n’abandukayo
N’amwambalira muggyawe ateredde kaliba
Wamma nebeegugunga mu bisubi
Nga bw’amulangira bukya
Obawenja abasawo mbakusanzeeko
Tuyanzeyanze okuggula essabo
Ng’anti omu ku bbo abolooga nnyo
Olwaggula essabo nebatereera ekikumi
Eyajja oluvannyuma y’olugoye
Yali alulese ng’ali mu ppeti ate eyulise
Wamma n’atulaga nnyo akabina
Mazima yatulaga nnyo akawale
Akaali akaddugavu nga kasibye nnyo akabina
Ate ki kyotomanyi?

Nnyini ssabo yali ng’awunze
Kuba yatunula enkaliriza eri olutalo!
Nga mpaawo kyagezaako okunyega
Mpozzi okukuŋŋaanya embugo okuteekwa ebigalo
Nalwa edda nemmubuuza obalabye?
Kko ye leka leka kino bukyanga ndagula kinsusseeko!
Kyenva ntulika nempalakata nnyo akakule
Naye naatanninda kuwola
N’ambuuza omulabye gwebayulizza olugoye?
Kko nze leka leka oli yabala
Netukungiriza engoye bwezibikka ebinene
Mazima kali tekaali kabina
Ng’omugongo eno gwonna gwonna gwonna bigodo
Kyetwava twewuunaganya ng’abakulu
Nti kati banatuuka batya awaka ewabeera abasuza?
Omu ku bo yagenda mulume
Ng’ate omulala nnyabo taliiko kagoye
Ye ani anaaba ng’aloopa?
Ye nnyinimu ogwo anaagusala atya kaakati?
Nebitubuzaako amagezi naye nze nengiiya
Oba nga nze abadde abakazi
Obusungu twanditadde ku bbali
Netuteeseganya ekintu kye tuyinza okuwoza
Netuwaayira bwe tusanze abalabe
Abateega abakazi netukoleeza olutalo
Era nze banjulizza olugoye
Ne munnange wuuyo n’alumwa nnyo mulabe
Netukisa ekibadde mu nsawo
Kubanga buli omu yali anonyeeyo
Bulabe Mukama n’ataasa

Amayembe ge gasinga obulalu
Naye ate mu ntalo go ge gasinga okuzitya!
Kuba essabo bwerigwamu olutalo
Tegaabandaala nago negayota omusubi
Endege omubeera abakulu
Twazironda wabbali ddala awabeera amafumu
Nemmanya nti wamma olutalo
Lw’oteetegese n’omuzira osanga akukumye mu bisegguusi
Bwegwatuuka awo nze kwekubanja yirizi nviire enkuuka
Olwaginfunira nentunuzaayo akabina
N’eddagala ninga eyanyagwa
Sifunanga gwempasa ndyawo mpugamu bawuge!
Mpozzi kye nafunayo ennyo mu basawo
Kyenva okulaga abakazi abasinga
Obungi bakozesa ddagala
Asinga munne okunoza, yaganja
Kaakati buli alina abakazi abangi nkutangaaza
Kati abanyumiddwa ebirabo muleete
E Masaka e Bubondo twazzeeyo
Mbalekedde Ddunda
Bannange agira ababeezaawo
Basudde w’abangi
Ke ŋŋenze enkya n’aleeta bipya

Submit Lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.