Kajubi KibijjigiriKajubi Kibijjigiri

Natandika guitar eno ng’agayirira
Mulabe bw’enfudde ekimpemempeme
Buli muntu annyumirwa entebe sembeza
Ndyoke nkulage bwe mbala enkoba
Omukadde Nakimbugwe Erivanson
Ekiva e bulaaya kye nzize nakyo
Mu by’enkulaakulana n’ebikoppebwa
Kikuba ennyiike obutabyawula
Buli kantu e bulaaya akadibizibwa
Baleeta eno ne tugwirana
Ng’engo bagyambazza eddiba ly’endiga
Abafumbo okukola kontulakita
Ky’ekikulaakulanya obwamalaaya
Obwo obufumbo bw’abeeru ne busattuka
Tobuuza gye mbiggye mbadde London
Obwami bw’omusajja bukoma wano
Eri mbwa n’omwana by’ebisuutibwa
Omukazi bw’akukoowa n’akufaggiya
Ne bw’oba n’ekifuba towaliriza
Balina ne Poliisi zi bakuntumye
Black berb oba ogiwulira
Ye last card kaagikukuba
Buli kaziina ko mw’akasonseka
Nakyala n’akusiggula

Abeeru baatimba ekibuga London
Mu ntimba ekifuula eky’obupangisa
Ne beddira mu byalo ne balannama
Bassaawo emisolo egisoloozebwa
Okutulugunya ekikazi n’ekisajja
Buli kalimu obaako z’osowolera
Wamma London kituufu wanyuma okola
Muganda w’omunaku aba siringisi
N’abeetunda tebeeyagalira
Embeera y’obudde etamanyiirika
Yantuma mbuuze abantu ba kuli
Akatale k’ebyana gye kasangibwa
Nalambula emidaala egisoba ekkumi
Sitaani n’annyanukula
Gye nakuba amaaso eri ku mabbali
Nga ku ggwala eriboobevu
Ne mmanya ennyonta linaagimponya
Abamanyi amawanga g’abaperusi
Lyali lizaalwa awo bukiikakkono
Bw’oba osomoka omugga Yolodaani
Kko nze kalibe eryato nja kulivuga
N’eryanyi ndirina erisika enkasi
Mugga nabaki ogunnemerera?
Ne ngiwa wiino ng’omuwendule

Bw’eri nkola y’abakazi ey’okuwalira
Ne ku ky’asiimye yeekoza
Y’ankaluubirira kumpi kunnema
Yawozanga kimu mbu nze gw’olaba
Eby’abasajja byantama
Omuganza naatakumalira kizibu kyo
N’okkuguza ekigugu seeyagalira
Maama onookola ki ng’olina okulya?
Nga ne gw’oganza enkeera tadda
Leero mmwe abagwira ekibatutamya
Mujja ne mwekuniza ebitagambika
Baakutuma mmeka eka z’oddayo nazo?
Kko nze ebya siringi zo nazikola
Azirya yaatannalabika
Yabuuza n’amannya na wa we nsula
Kko nze Kibijjigiri oba omuwulira
Emmunyenye ya Matendo Promoted
Nsula ludda wali North London
Nalaba amatidde ne mmalirira
Nze omanyi bwe nkwasa ssigazaagaza
Ontegeera otya?
Njagala okube akafaananyi
Ng’omuntu omulala bamuwa agabe
Ndowooza olaba awo bwe ngujubana
Bwe ndya bwe mpuuta bwe nsolobeza

Nayolesa amaddu agatagambika
Kyava ambuzaamu nga tunyumya
Nti eccupa z’omwenge omalamu mmeka?
Maama ntamiira ku ccupa essatu
Naye bwe neekakaba ey’okuna nginywa
Kyava atulika n’ansekerera
Kko nze omuntu ono ajja kungaya
Ne nnywa esooka amankatakkata
N’eyokubiri n’esumululwa
Eccupa eyokubiri eyo yammenya
Kye nava mmusaba mpummuze oluba
Yafuuka nswa n’ampalalira
Ggwe waŋŋambye omalamu ssatu
Ogulekera ani guno n’asumulula
N’okunywesa akaseke abiganye
Eccupa agikutte live
Ng’akula n’aba ng’alinnyibwa empewo
Yakyusa n’olulimi kko nze bukuze
Lilamusaali werabe
Bigula omulali lalilesime, Kibijjigiri
Anama kinamu camba datiri
Kifaniwe Rose Royce
Akiti adungu kko nze yes
Nga n’Olungereza takyaluwulira
Kye nava nzirako mu lw’obuzaale
Bajjajja bannyambye tebanjabulira
Nze nnyimba nze nnyanukula

Ndibyogera
Ndibyogera aaah
Lubaale wa bamalaaya aba museegu
Ndibyogera
N’awatali ŋŋoma ajja ku ntoli
Ndibyogera aaah
Tawongerwa mbuzi asaba nkoko
Ndibyogera
Chips ebibumba ne bbiya
Ndibyogera aaah
Bw’acamuka obulungi akoona n’endigi
Ndibyogera
Obuveera, kuluudu ne Lira Lira
Ndibyogera aaah
Tatamiira ne bw’anywa omwenge ne bukya
Ndibyogera
Ayagala engoye zo ng’oli mu kiyigo
Ndibyogera aaah
Ekisaanyizo ekiberyeberye amanya ennimi
Ndibyogera
Olufalansa, Oluzungu n’Olulingala
Ndibyogera aaah
Ennyambala ennaabuufu ziba mini
Ndibyogera
Baakigandawaza mbu appetizer
Ndibyogera aaah
Akulinnyisa agasozi aga lubaluba
Ndibyogera
Ate bw’omala okkoowa n’omusasula
Ndibyogera aaah
Agannyabo Nakimbugwe Erivania
Ndibyogera
Sigenda kuddira kugenda mu katale
Ndibyogera aaah
Kanvumbevumbeko bwendi buno
Ndibyogera
Gundese ngyavuwadde nkulubuse
Ndibyogera aaah
Bakuba mortar abantu abo
Ndibyogera
Takuyita daddy nga toogule mata
Ndibyogera aaah
Ndibyogera
Ndibyogera aaah

Correct lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.