Ekitibwa Kya Buganda Lyrics
Twesiimye nnyo, twesiimye nnyo
Olwa Buganda yaffe
Ekitiibwa kya Buganda kyava dda
Naffe tukikuumenga
1.
Okuva edda n’edda eryo lyonna
Eryo eggwanga Buganda
Nti lyamanyibwa nnyo eggwanga lyaffe
Okwetoloola ensi yonna
2.
Abazira ennyo abatusooka
Baalwana nnyo mu ntalo
Ne balyagala nnyo eggwanga lyaffe
Naffe tulyagalenga
3.
Ffe abaana ba leero ka tulwane
Okukuza Buganda
Nga tujjukira nnyo bajjajja baffe
Baafirira ensi yaffe
4.
Nze naayimba ntya ne sitenda
Ssaabasajja Kabaka
Asaanira afuge Obuganda bwonna
Naffe nga tumwesiga
5.
Katonda omulungi ow’ekisa
Otubeere Mukama
Otubundugguleko emikisa gyo era
Bbaffe omukuumenga
More from us
- Esanyu Dagala by Irene Ntale
- Omwana by Juliana Kanyomozi
- Ritah Dancehall released from jail after Sheebah criticizing Spice Diana for jailing the dancer
- Suna Lyrics by Ricardo Omuto
- Suna by Ricardo Omuto – Mp3 Download
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.