Kalifah AgaNaga – Ekitangaza Lyrics
Intro
Eh ah, Kalifah mu kano, Big Power mu Aganaga
Eh ah, eno ensonga, kawo kadda, kasangwawo nange mbyebuuza!
Chorus
Twetaaga ekitangaaza, netutangaaza eby’enkya bwebigenda okuba
Naye mukama, abantu bekyusa, abantu befula, ebintu byekyanga
Twetaaga ekitangaaza netutangaaza aaah…
Ebintu okwekyusa, okwefula, okwekyanga… eh ah
Verse 1
Nkugambye notunulira embaga
Bweba nga motoka abantu bekyusa nga zi gear
Nkugambye notunulira embaga
Bwenzijukira story za Chamili ku Chagga
Ronnie Banton, City Limit Crew wa gyeyalaga
Tewamanya mbu Goodlyfe Jeff Kiwa teyabawa
Mbu n’akazimbe yakabajjako bayimba y’afuna
Nkugambye notunulira embaga
Straight from Dangala Kamwokya, Bobi Wine ku Bucha
Ku lunaku lw’embaga ye ssebo teyalabwa
Wadde na ka-cake bwekati mbu Bucha teyakalya
Aah, Blu*3 ah, ndowooza olaba
Cindy bweyagenda nebatetenkanya awo ku Mya
Abantu bawukanira ddala ne banabwe wano ng’olaba
Byagwa ku charlie wange ah Back 2 Lyf Ziza Bafana
Aah, nkugambye notunulira embaga
N’abagalana walayi bekyusiza zi color
Bbwenzijukira story za Straka ne Sizza
Straka ku lunaku lw’embaga e Namboole ng’amagamaga omugole Sizza
Mama Phina munange okyetaaga, ekitangaaza, nawe notangaaza
Abantu befula, ebintu byekyusa, aah… eh ah
(Chorus)
Twetaaga ekitangaaza, netutangaaza eby’enkya bwebigenda okuba
Naye mukama, abantu bekyusa, abantu befula, ebintu byekyanga
Twetaaga ekitangaaza netutangaaza aaah…
Ebintu okwekyusa, okwefula, okwekyanga… eh ah
Verse 2
Abantu okwekyusa, okwekyanga, kasangwawo, kawo kadda
Abantu bekyusiza banabwe lwa bya nfuna
Bwenzijukira story za Yezu Kabaka ku Yuda
Wano mu gyenkaaga nga Mutesa yafuga
Obote yamwefulira namujjako entebbe wano ng’amogga
Mbu aba agenze e bulaaya Obote okukiika embuga
Essimu ng’olwo evuga okuva ewa Amin mbu eno todda tokyafuga
Abantu batira ddala banabwe muby’eswagga
Bin Laden, Gaddafi, jukira mzeeyi Sadda
Abantu bavumira ddala banabwe wano ng’olaba
Bwenzijukira story za Walukaga ku S…
Bebe Cool, ba Kiwoko nawe bambi tewamanya
Yeah ah, bibuuza bibuuza, ah ndowoza obilaba
Story za aba Amalura ne Paddy Bitama
Wano jjo juuzi nange mu mawulire nalabwa
Ku story za Coco Finger ne Emma
Anti mbu nabo bekyusizza zi color
Aah nkugambye notunulira embaga
Aba Eagles na Haruna obilaba, eh ah
Outro
Aganaga, Aganaga, Aganaga, Aganaga… eh ah
Kamwokya, Ntinda, Bukoto
(Twetaaga ekitangaaza, twetaaga ekitangaaza)
Nateete, Ndeeba, Kabusu
(Twetaaga ekitangaaza, twetaaga ekitangaaza)
Makindye, Seguku abaana be Kabowa
(Twetaaga ekitangaaza, twetaaga ekitangaaza)
Abaana ba D.T (Twetaaga ekitangaaza, twetaaga ekitangaaza)
Nkola wa Kisekka, mu Kiyembe, Nakasero yona
(Twetaaga ekitangaaza, twetaaga ekitangaaza)
Ab’amadiini mwena mukyetaaga,mwena fena tukyetaaga
Omukadde anzala, Taata Zanoa, bino bikabya n’amaziga, ohh… eh ah
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.