Fred Ssebatta

Circus Lyrics by Fred Ssebatta

Tudigide olunaku lwa masanyu
Mukyala ebintu byateredde
Naffe tugenda kuduulanga
Yiino enju yaffe yawedde
Kulika ennyumba za Betty omukopi
Akubanja n’akuyita n’embwa
Ba landiroodi nga bakambwe
Ffe tuwonye okulangirwanga
Nkwebaza n’okunyiikira okukola
Notoddanga mu lugambo
Omukazi ayiiya mulungi
Nze gw’ompaniridde mu kuzimba
Gira tukole n’endagaano
Ennyumba eno ngisse mu mannya go
Nga ndayira mu ga Katonda
Teriba mulala agitwala
Ennaku y’obupangisa ogiwonye
Nkujje mu kazigo akafunda
Love yo ngisanyukidde
Kati nno munnange mukwano wano we tunaasulanga

Naye Ssebatta ojooga
Kaagiggulawo mutemye ejjinja
Obwedda ndi wali emmanga
Nga mwekaalisa mbalaba ebyenyi
Ssebo leka kubeera wa nkwe
Ba bba ffe lwaki mwefuukuulanga?
Onfudde atagasa olimba
Namenyekera ki okuzaaliranga?
Nze omukazi ow’abaana
Ssaalongo oyinza otya okungalabanja?
N’ojja ozimbira malaaya
Nga nze onsudde wali nga kikekenke
Ssaali na wa kuzaala kuzaala
Gwe waŋamba ntino ojja kuzimba
Nange kwe kubaka ennywanto
Buli mwaka ne nfuba okuyonsenzanga
Kyokka kati oneegobako shaa!
Naye abasajja mumanyiira
Mukyala bakuwaana geza ogiggulewo ondabe obuswandi
Geza!!!

Ojidde mu love ki eyo?
Speed kendeeza mukyala
Onteekangamu akatiibwa
Ne bba ffe tanduumira atyo
Ssikigaana osaana kutendwa
Mu kuzaala okoze na maanyi
Naye nkunenya eky’okuba omuleera
Ozaala tolina plan
Onyumirwa kimu kuyonsa
Buli mwaka n’okama obunywanto
Omuntu atali muleera
Kati akyazaala eryo eggana ly’ente?
Zaala nno oluggube lw’abaana ng’onofaayo obayiiyizanga
Kyokka osiiba ka mu lwali
Buli kantu n’osaba omusajja
Mmwe abanyuunyuuta abaami
Mmwe mubalemesa okwezimbanga
Osaana okole mukyala
Kati abasajja baagala abayiiya
Ye by’olerejja by’ebiki ebyo?
Mbu enju nteekwa ogisula munda he!
Nkutemye akakule olimbye
Tojja ginemesa maama nagituuyanira

Yiii onangidde obutayiiya
Mbu nsiiba waka kwekama bunywanto!
Nze kati abaana mbaleke awo bakaabe
Mbu ndi eri nkola lupiiya?
Omwoyo gw’obuzadde gunnuma
Mbaleka ntya nga banyiiziira?
Na kino osaana okitegeera
Nze ezzadde lye nina ssi lya muzannyo
Kyenva nyiigira ne bba ffe
Mu butuufu yalwawo nnyo okunzimbira
Yandibadde yaplanninga dda wanteeka okumpummuliza
Wandiba Fred tonjagala
Nga bye nzaala nkola katinko
Gw’ate singa obadde onjagala
Wanditizze bw’otyo n’akajanja?
Kati n’abaana bakumissinga
Ebbanga ly’omaze ddene nkole ntya?
Lwaki nkulinda ku circus n’osalawo okundodginga?
Kiki?

Tokaaba maama sangula amaziga
Sinakukyawa onsanyusa nnyo
Nkwagala munnange Nanfuka
Ne circus nkyagirowooza
Mukazi gwe nsaanye nkwagale
Tonyoomeka onzalidde nnyo
Buli mwaka ovaamu omuntu
Naye obunafu bwe bukuntamizza
Weebaze ne muggya wo okukola
Ndowooza singa temukyalya
Ensimbi ze nkuwa ogula enva
Oluusi y’aba azimpadde
Ky’ekimunjagazisa Nakato mukazi wange ayiiya nnyo
Bwemba sifunye lupiiya
Mu katale aligula ettooke
N’enju gy’okaayanira ndaba y’aginnyambyeko okugizimba eggwe
Kati ssebo ogigabidde ye?
Ge mazima ggyako akabuuza
Kambaleke mwegiriise
Kuba Katonda bw’ayagadde
Kaŋende ndaaganire mu mizigo
Nga mmwe musiiba eno mwegirisa

Mukyala ekintu kino kya kuyiga
Nkikukoze olyoke otereere
Naawe olinnye ku mutindo
Ove mu bakyala ba kifuufu
Nwana nnyo okulinnyisa akatale
Plan zange ne zigaana
Kuba gwe gwe nfuba okuzimba
Tolina kantu ke wefaako
Sso ng’omulembe guno gwa kukola
N’abakazi bafungizizza
Kati bayonsa batabaala
Faanana ku bakyala banno
Ate bw’oteemanyiiza bya kukola
Nanfuka mu dda olikigwaako
Abaana be nzadde olugana
Bwe nzaawa olibaliisa ki?

Ngiwuliide eyo nsonga
Mbadde simanyi obwedda ky’otegeeza
Fred wetooloola nnyo
Obwedda ky’ekyo kye ntegeeza
Nkutendeka ove mu lugambo
Okole owone ebizibu by’ensi
Mwami kantandike n’enkya
Nanfuka awo ojja ganja
Kati ngya na kuzimbira enju
Nkulage omukwano gw’olitenda
Kati ku circus on’ojja ddi?
Ngya kugirinnya nzija n’enkya
Naye olina okupakasa
Kati abasajja twagala abayiiya
Millennium tuli mu mpya
Nkakomezza ssebo akajanja
Ŋenda na kuzimbira enju
Nkulage omukwano gw’olitenda
Ku circus on’ojja ddi?
Ngya kugirinnya nzija n’enkya

Mulembe gwa kupakasa
Omukazi aneegayaalira
Circus ye teetunuulirwe
Abasajja bajja kudduka
Mulembe gwa kupakasa
Omukazi aneegayaalira
Circus yo teetunuulirwe
Abasajja bajja kudduka
Repeat till fade

Correct lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.