Omufu Lurenti Lyrics by Christopher Kiryowa
Njagala mbakakase leero nti nazze kulema
Bataayi mwanguwe nzijudde
Kiryowa yenze kennyini abatadde ku bunkenke
Olwaleero bwe mbagasse obwongo nti
Nga n’omukisa gwenfunye okudda
Nga zinkubira enduulu gunnyumidde nange
Wabula kangukozese obabikira mmange
Nabitaka yafa ebiro ebyo
Oyo yawummula naye nze akyalya
Nina okupanga ennyo bwe nsomesa abaana bange
Obwongo kambukozese nnoonyenga biki
Bye mwetaaga mbibawenga bwentyo era
Wensoboledde weewano sifudde ku kukerewa
Better late than never
Mumpagire mbayimbire obuyimba
Obw’amakulu obuyigiriza ate obuwoomerevu
Ndowooza mukisiimye nammwe ekyo
Musooke mundage okusiima kwammwe
Ndyoke nsumulule oluwombo
Olugero lwa zikusooka nezitakuva nnyuma
Lunyuma mu ssaawa ng’eno
Kubanga bwe musanyuse ate nange nempulira
Ebinsunaasuna mbunye omukwano nzenna
Nsaasira ababadde beefunyiridde
Kukunnemya okuwaguza ddiiru eyiise
Naye kale mbasonyiye olwokuba temwamanya
Mukisa gwa ssebo gwe yampa nze
Mikwano gyange giweze era okwo kweŋŋumidde
Ndiziikibwa ate mu kitiibwa nnyo
Munziikanga Maggwa Kassanda
Okukyamira e Myanzi eyo y’ewaffe nanti
Era eyo gye naganzika oluwanga lwa kitange
George William Kayonjo lwafa
Ennyimba zange muzisuzangako
Zibabeesebeeseeko mu masanja kw’olwo
Abaana bange mubakuuma bulungi
Nga nze bwe munkuumye alo nze nsiimye
Ono nno k’omulabe bw’atidde alowooze
Nti n’afa nkya ekyo nedda bambi
Eky’okulaama si kibi kubanga nebwoba
Oliwangaala otya olina okufa era
Tteeka eri buli kitonde mu nsi
N’omutemu okimanyi bw’afa naye
N’alaga be yatta gye baagenda
N’omusawo omulungi n’afa
Nga tasobola yadde na kwetaasa aah!
Eby’enfa ya Lulenti n’amaziika ge
Mbireese olwaleero mumanye bwe byagenda
Lulenti yali munywi wa mukago nga nkola naye
Mu leerwe e Kampala mwetwali
Olumbe lwamutuggyako mu ngeri y’olusaago
Musujja gwa nsiri gwe gwamutta
Nga tannafa nno twafuba nnyo nnyo
Tugulwanyise okuguwonya omusujja gwagaana
Mmotoka twagipangisa okumutwala
Mu ddwaliro e Mulago ezo ssente zaafa
Baamuwa ekitanda n’amazzi
Eccupa baagimussaako naye nga wapi
Agenda okukutuka nga tewali siringi
Eneetuyamba enemujjulula awo
So nga yatulaamira okumuziika e Luweero
Nga nze bwe nkoze okusooka wali
Maliko kwekweyazika akagaali ka sewajjuba
Lulenti atwalibwe e Luweero
Omulambo ogufulumya e Mulago twabba mubbe
Nanti omusawo yali atubanja
Busente bwe nali nabwo twagulamu kikunta
Netumuzinga era tewaasigala
Tukulebbya mufu Lulenti ono
Mu kasana akeememula kw’olwo
Olugendo lwa mmayiro ataano bwe ddu
Naye nga tulina okutuuka
Twasaawula ngere obudde bwagenda okuwungeera
Nga tuli wala nno nnyo
Kuba enjuba yaggwerayo Kalule nga tumukubye amabega
Okumanya nga twesaawa!
Wabula ng’enjala olwo kyeetukola
Sirina na bwe nja kinyumya naye kiteebe
Ennyonta bwe yatuluma nga tukyama ku nayikondo
Bwetutyo okunywa ku mazzi
Naye obudde bwe buziba
Enkuba kwekutandika okwesanta nayo okutonnya
Eggulu lyanyinyibala n’enzikiza naye ate
N’ekwata nnyo nga gyebawendudde
Yatandika okutonnya kko ffe nno
Tetugyeggame n’etukuba nga bwe tugenda
Embuyaga yatandika n’omuzira omusuffu
Kko Maliko nti alo tugyeggame
Twakyama we twalaba light
Mu mpatanya z’oluggi awo nga we twali
Mu luggya mwalimu omuti ogwo nno
Kwetwesigamya akagaali n’omufu Lulenti ono
Okuggulira abantu ekiro nakyo nakikomya olwo
Nenkimanya bwe kiba ekibi ennyo
Maliko bwe yakonkona nnyinimu n’amuggulira
Awatali na kubuuza nti nno ani?
Bw’agenda okuyingira baali bali ku ky’eggulo
Nebamugamba naawe tuula olye
Kko ye nno wabweru ndeseeyo munnange
N’ebintu ate ebiri ku ggaali
Nnyinimu kwekutusaba ebintu tubiyingize
Tusembere nabo ku mmeeza
Maliko kwekumuyita akkirize okufuluma
Ajje annyambe okusitula eno
Tuba tuyingiza tutyo omulambo gwansimattuka
Negugenda olwo gwekkata awo
Nga katemba yali awo, omulambo omuwanvu
Mu nnyumba ey’awaka wetwakyama
Nkugambye kyayitirira enduulu n’emiranga
N’okusattira abali mu nnyumba
Nnyinimu yampita muno n’assaako kakokkola
Yeetaase omufu Lulenti
Abakazi nga badduka n’abaana bonna okwo
Twasigala ffe tugasimbaganye
Maliko bwe mmubuuza kiki kyetuba tukola?
Kko ye nti omufu agabudde
Nga tudda ku mmere nga tweriira
Enkoko ya nnyinimu temwasigala
N’ebyennyanja by’abakyala twabirya chwe
Nga nkulabira omufu Lulenti ono
Enkuba weesammukira nga naffe tumaze okulya
Nga tugwa mu ddene buto ate
Twagenda bwe tuseka nga tutema obukule
N’okwewunya omufu Lulenti
Kuba enjala yatuluma n’omutima gumu nno
Naye laba empona gye twagiwona
Twatuuka e Luweero ng’olwo bugenda okukya buti
Netwebasaamu ku bukoowu
Netuziika Lulenti nga n’abataka basanyufu
Olw’omutima guli gwe twayolesa
Naye ng’ekitiisa omufu ye kiki?
Ndabye nammwe ensisi ebakutte ate
Nze nali kale sitya Lulenti
Yali mukwano gwange owomunda
Wabula ate tetwaddayo kulambula mikwano gyaffe
Ab’emmere wali we twakyama
Oba badda oba tebaddanga!
Baatuyita basezi anti kw’olwo
Lwa kiraamo kya mufu Lulenti ono
Bwe tuba nekyetuggyamu okuyiga ku mufu ono
Ŋŋamba Lulenti eyalaama bwatyo
Ebintu ebitulaamirwa tusaana
Tubikwate bukusu ssebo ate tubituusenga
Abantu abawakanya abafu bye babalaamira
Bafuna n’ebizibu bingi
Bangi babonyeebonye talina ky’akola
Nekimulamira okusinga lw’ebyo
Bwe bubenje enkumu obwo bw’owulira
Ku bava okuziika bungi bujja lw’ebyo nanti
Omuntu n’abalaamira okumuziika e Buwaate
N’okyusa omulaze e Busimbi
Z’emmotoka ezigwa nezeefuula okubula
Abanaawonawo okuggyako omufu yekka
Sso bambi bw’otuukiriza omufu
Bye yakulaamira yeebaka muyonjo gyoli
Ebizibu abiwugula n’obuzito abuwewula
Kuba mpewo nnungi gyoli gwe
Lulenti mu kusanyuka mulabye bwe yagabula
Nga tutuusa ekyo kye yalaamanga
Ekiraamo kyange mukikuume nnyo
Mpozzi bwendiba nnaamye obuggya
Bataayi bange mundeke ŋŋende
Ab’Engabi ka bye kaako alo
Mmwe bakyala bange be nasiima eka
Munsabire nnyo Ddunda ankuumenga
Lwendidda mbawe ebiwoomerevu kale mweraba
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.