Byekwaso Lyrics -Bobi Wine

Intro
Life is life
And everyman live it inna ye own way
But the best way to live life
Is to live with the truth in your heart

But if you stand for the truth
You better be ready to stand alone
I say, if you stand for the truth
You better be ready to stand alone

Hear me now
Ewaffe gyenakulira e’Kanoni wabangaayo omusajja eyalinanga sente enkumu
Byekwaso yali wakabi mu Kakoni ngalwalabikako
Bayita wamu ne Phille
Naye ng’ekyewunyisa ku sente zeyali alina
Byekwaso yali tapoowa mu City
Nga n’oluusi ba Phille bwe babakyala yabakwata ku mukono
Nabaleetako mu ghetto
Era nze okuva mubuto nayagala nnyo
Bwenkula mbe nga Byekwaso
Olummu nze namusalako nemwebuuzisa nti “Okikola otya Byekwassho”
Yangamba bwolikula obeeranganze
Sente zolifuna zireme kukufuula muntu mulala
Obeeranga mwesimbu ebikyamu obigaane
Ebituufu byoba osomesanga abalala
I know that the truth will be alone lorry
Olemerangako nolwanira ng’amazima

Buli lwoyimirira kumazima oyimirira bwomu
never ever expect nobody to defend you!

Chorus
Baagala nnyo okugenda muggulu naye tabagala kuffa
Baagala nnyo okugaggawala naye tebagala kutuyana
Baagala nnyo okugenda muggulu naye tabagala kuffa
Baagala nnyo okugaggawala naye tebagala kutuyana

Sente twagala
Ebyobuggaga twagala
Naye teli kisobola kugula mwoyo
Bikyaamu bikolwa buli lunaku tubiraba
Naye okubyogeera kubeera ng’akumira mwoyo
Nze kyenvudde nsalawo mbyesonyiwe
byenjagala okukyusa kambyenkyusize
Oba kugogola mwala oba luzzi kandwezimbire
byenjagala okusomesa abaana kambyesomeseze
Ayi, nze kinnuma engoye okuzijja nga e’China
Nga tulima ppamba tuzaala neba designer
Singa twali twazimba oil refiner
Tetwandinvunamidde mbeera zaba foreigner
wabula oli buli lwakufuula beggar
Ajja nemu makaago nakukolera amateeka

Chorus
Baagala nnyo okugenda muggulu naye tabagala kuffa
Baagala nnyo okugaggawala naye tebagala kutuuyana
Baagala nnyo okugenda muggulu naye tabagala kuffa
Baagala nnyo okugaggawala naye tebagala kutuuyana

Oyi, kati nze nva waggulu
Ngambagamba nti ebyensi ebimu byo byavvunda
bwoba nekyokirizaamu okiyimirangako
Bwomu ng’abwoli gwe
Era bwotankuula ng’olutalo ng’awesize mikwano gyo
Mba nkusasidde
Beebamu abakujubisa ate nebakulabisa
Katinno osaan’obegendereeze

kati amazima gamutima gwo
Mpozi namwana wo
Era Muzeeyi yangambye
Labirira famile yo mukyala n’abaana bo
Manyi nti bangi abakuwagira

Pre-Chrous
But if you stand for the truth
You better be ready to stand alone
My son
If you stand for the truth
You better be ready to stand alone
Ayagayaga yo

Baagala nnyo okugenda muggulu naye tabagala kuffa
(bebantu baffe)
Baagala nnyo okugaggawala naye tebagala kutuyana
Baagala nnyo okugenda muggulu naye tabagala kuffa
(bebantu baffe)
Baagala nnyo okugaggawala naye tebagala kutuyana

ūüď£ Do you find¬†Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.