Waliwo ekintu kye nayambala ng’akakomo
Nga nkiggyira ddala mu kyogero nkyakirina
Nayimba kuva buto ne maama bwaba annyumiza
Nga nkaabisa ggono nga nkyaliko n’ekirera
Wano mu kwavula nayongera obeyagaza
Nga ngegeenya bye boogera ng’ayimba
Mu kutambula nga maama bwampa obugalo
Nannyimbiramu natandika omwanukula
Kati ogamba otya abantu nti mba nimba?
Okuyimba kwanva mu kyogera nkwekakasa
Ye singa saalemwa mazina singa nzinamu
Ne nyeenyeza ddala ekikolo yonna emabega
Naye amazina kye nagakola okunziruka!
Ne mbulamu n’amatonotono era simanyi
Nsanga obuzibu okukiraga mmwe abantu
Nti kati ndi mu ssanyu oba kati nkungubaga?
Nze bwe mwenya n’ontunuulira ompa amabugo
Wamma obubi musango munene nakkiriza
Kye nava nange mbizza ku bbali eby’okuseka
Ssisuula bantu ku nkonge lwa kunziruka
Mutya no baana ba taata mwenna abaliwo?
Nkyaliyo muzeeyi Ddunda akyalunda
Mbebazaamu bannange kano ak’ensusso
Mwebarege baana ba nnyabo kunjagala
Buli omu engeri gy’anjagalamu era ssimenye
Kyama kyammwe nange kaakati ki ndoopa?
Kale no ennamusa ennungi eyo ey’eddembe
Evudde mu kamwa ka Ssemakula ow’Olugave
Mutandike nze nkutte
Nga bwe nali nkyali era ndaba

Singa mubadde bamalirivu nga nze omu
Mwandisabye gavumenti mu kungubaga
N’eteekawo obukwakkulizo anti yo esobola
Abazaalibwa e Buddu tuyiggwe buweewo
Etuzze ku butaka mu bulumi ssi ddembe
Kuba ssikiwa nti olusaasasa n’asobola
Buddu ow’edda eyamulaba ononnyamba
Omatiza abantu ku mipokino oba nimba
Buddu waffe n’asereka yenna emisiri
Ng’awakubuze olusuku eyo eba emmwanyi
Buddu waffe n’asereka yenna emisiri
Ng’awakubuze olusuku eyo eba emmwanyi
Ba kitaffe baalima Masaka yenna obusiko
Nga migga mulabe eggugu kale oba ssaalu
Ne babugiriza ennimiro zonna emituba
Masaka n’addugala n’emmere ye yenna kiragala
Obubuga obutono bw’asooka okweyalula
Nga buzimbwa ba kitaffe yonna yonna ebbaliko
Ba kitaffe baagula mmotoka bwoba ojjukira
N’obuppikippiki obubanguya mu by’okulima
N’erinnya baabuwa erituyamba obujjukira
Bu mmwanyizaabala wenimbye mumpabula
Kintu ekyo gavumenti kyagiwa okwebanja
Neetukolera enguudo yonna ebbaliko
Abatuuze bavuge mmotoka n’okweyagala
N’ezibasombera ebirime zifune obwangu
Ba kitaffe emyaka gimaze obaddukako
Abaana twasamye mu Kampala ng’ebinyonyi
Abafunye ku ssente ssaako atalina
Tutundula minwe kindeese okungubaga
Ŋenda kwogera mbasonsole naasibibwa
Ekkomera teritta, ne Mandela akyatunula
Akutte n’enkasi ekyamusibya era akiraga
Nange ndivaayo ne mbalangira ate olulala

Muli babi nkukkuluma kale
Tuzzeeyo nnyo emabega
Kampala ki atusika?
Ne tuleka eka okufuma?
Muli babi nkukkuluma woo!
Tuzzeeyo nnyo emabega
Kampala ki atusika?
Ne tuleka eka okufuma ennaku?

Kampala kiguudo kya nnusu olw’ensonga
Atuyigiriza okubba ffenna abalimu
Enziba y’etefaanagana kyokka ogatta
Mu Kampala aligaana okubba era akulema
Ky’ekyasomba abavubuse ng’obukulwe
Ne tweyiwa mu Kampala tukwazze omunyago
Naye ekibi anyaga obulungi bw’agaggawala
Azimba Muyenga mu nsozi okwekutika
Ntinda, Kololo ne Buziga oba awalala
Kati tuzimbye ne mu bisenyi ng’eŋonge
Wansi emyala gitwala mukoka ate acuuma
Tukutte ku nnyindo ku ngulu kuno tweyalira
Kiki ekitulabya ennaku tutyo n’abuuka
Abalina ewaffe ensi engimu ennene ate obulala?
Masaka ekibuga kya bajajja era okuzika
Magezi kubula ba nnyinigo, gwe oba nze
Singa enju ze tuzimbye mu mawanga etujuna
Nga twazizimba waffe Masaka nkyabaliko
Singa tuleeta n’abalambuzi okwelolera
Ekibuga ky’abalimi abakenkufu ab’edda ennyo
Naye kati mmese ze tusigadde okugoba
Masaka akuleeta n’amaziga bwoba oyitamu
Tuli Kampala tuzimbye yonna yonna obutaka
Eyaloga ab’e Buddu era n’embugo akyawanise

Muli babi nkukkuluma kale
Tuzzeeyo nnyo emabega
Kampala ki atusika?
Ne tuleka eka okufuma?
Muli babi nkukkuluma naye!
Tuzzeeyo nnyo emabega
Kampala ki atusika?
Ne tuleka eka okufuma ennaku?

Tuzze mu byalo ewali yonna emisiri
Kati tusensera nkande bw’oba ogenda
Era abayizi mwanguwe mutwale entuula
Emisu giri e Masaka yonna ebisiko
Nanti abazeeyi gaabaggwa byonna biziina
Agaana tuli Kampala mu kwasaamirira
Wamma otuuka gye tuzaalwa n’ofa ekiruyi
Ezaali enguudo, kusensera ng’ogenda
Ku Bubondo kwaliko amayu mayumba makadde
Gazimbwa ba kitaffe eyo mu myaka egiyise
Ffe abaana akula y’adduka teri ayongerako
Tuli Kampala tuzimbye agatemya ng’abantu
Okutuusa jjo bwe twevaamu nga nze ayimba
Ne Kaweesa azaalibwa omwana omu awo Kakooza
Ne tuzimbayo amayu muwuubeyo ko okugulu
Ekyalo ne kimuuzuula ku munye mu akatono
Kale singa ne bannaffe badda obutaka
Bali Kampala Muyenga eyo tuzza mirambo
Ne tusaawa ensenke, ccuucu ate eno bisagazi
Twerula ebiggya tuziike abasula mu Kololo
Nze mbeera Kampala naye ne bwe nfa kati
Ssikankana gye muntwala waggwa okuluka
Tube mu Kampala tunyagemu ng’abanyazi
Bye tubbye tubireete eka okubba okugasa
Ssibagaana kuzimba Kampala bwoba ng’osobola
Nange e Ggaba nina amaka agakuuma omulimu
Naye ebisingayo obukulu nadda obutaka
Bubondo aganyulwe mu muzzukulu gwe oli ku ki?

Muli babi nkukkuluma kale
Tuzzeeyo nnyo emabega
Kampala ki atusika?
Ne tuleka eka okufuma?
Muli babi nkukkuluma naye!
Tuzzeeyo nnyo emabega
Kampala ki atusika?
Ne tuleka eka okufuma ennaku?

Kati abadde atolotooma onoobireka
Nze Buddu y’annuma numwa byange nvaako
Olaba badongo bannange bonna abaliyo
Mbakunga lwakuba teriiyo wa bampitira
Tube ku mulamwa bannabuddu ab’endongo
Nze nina owange Kabuladda y’ampa eggaati
Naye okuzika kwa Buddu awo nteeka eri
Male okulwanyisa ettaka lyange ng’omuntu
Ndowooza kati eby’obuyigirize ssi nsonga
Abaasoma nsaba mbalage nti era nsobola
Okusoma kuyamba luzungu oba okubala
Naye ebisigadde ozaalwa nabyo ng’omuntu
Kati ffe abaasoma guitar katukunge abantu
Tubabuulire ku kya Buddu nti anaagogolwa
Temubalaata bannange luno lwo luyinja
Odweyambulamu mu bulago kwekamba nnyo
Buddu ajja kuyakaayakana ng’amyamyansa
Tulyoke tusekere mu bibatu nti owa anyirira
Basudde mumpite nkomerewo ate mu mizira
Ndyoke mbagambe n’ekiribalema okwebigika
Eggombolola mwe nsibuka y’eri Butenga
Omuluka gw’e Kawoko ate ekyalo
Bubondo ettaka lya Sseruyindi jajjange
Kitange ye Eria Katende Kizza Omugave

Muli babi nkukkuluma kale
Tuzzeeyo nnyo emabega
Kampala ki atusika?
Ne tuleka eka okufuma?
Muli babi nkukkuluma
Tuzzeeyo nnyo emabega woo!
Kampala ki atusika?
Ne tuleka eka okufuma ennaku?
Muli babi nkukkuluma kale
Tuzzeeyo nnyo emabega
Kampala ki atusika?
Ne tuleka eka okuzika?
Muli babi nkukkuluma yiii!
Tuzzeeyo nnyo emabega
Kampala ki atusika?
Ne tuleka eka okufuma ennaku?
Muli babi nkukkuluma naye
Tuzzeeyo nnyo emabega
Kampala ki atusika woo?
Ne tuleka eka okufuma yiii?
Muli babi nkukkuluma
Tuzzeeyo nnyo emabega
Kampala ki atusika?
Ne tuleka eka okulima wo?

Read Mukyala Mugerwa Pt.1 Lyrics by Herman Basudde

Share Buddu Owedda Lyrics by Herman Basudde

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.