Bobi Wine Byekwaaso LyricsBobi Wine Byekwaaso Lyrics

Byekwaaso Lyrics by Bobi Wine

Life is life and every man live it inna him own way
But the best way to live life is to live with the truth in your heart
But if you stand for the truth you better be ready to stand alone
I say
If you stand for the truth you better be ready to stand alone, immie yo

Ewaffe gyenakulira eKanoni wabangayo omusajja eyalinanga sente enkumu
Byekwaso yali wakabi mu Kanoni nga lwalabikako bayita wamu ne Philly
Naye, ekyewunyisa ku sente zeyali alina Byekwaso yali tapowa mu city
Nga n′olusi ba Philly bwe bakyala yabakwata ku mukono n’abaleeta ko mu ghetto
Era nze okuva my buto nayagala nyo bwenkula mbe nga Byekwaso
Olumu nze namusalako nemwebuzisa nti okikola otya Byekwacho
Yangamba bw′olikula obeere nga nze sente zolifuna zireme kufuula muntu mulala
Obeeranga mwesimbu ebikyamu obigaana ebituufu by’oba osomesanga abalala
I know that the truth truth will be a lonely road
Olemerangako n’olwaniranga amazima
Buli lwoyimirira kumazima oyimirira bw′omu
Never ever expect nobody to defend you

Baagala nnyo okugenda mu ggulu naye tebaagala kufa
Baagala nnyo okugagawala naye tebaagala kutuyana
Baagala nnyo okugenda mu ggulu naye tebaagala kufa
Baagala nnyo okugagawala naye tebaagala kutuyana

Sente twagala eby’obugagga twagala naye teri kisobola kugula mwoyo
Bikyamu bikolwa buli lunaku tubiraba naye okubyogera kubeera nga kumira mwoyo
Nze kyenvudde nsalawo mbyesonyiwe
Byenjagala okukyusa kambyekyusize
Oba kugogola mwala oba luzzi kandwezimbire
Byenjagala okusomesa abaana kambyesomeseze ayi
Nze kinnuma engoye okuzigyanga e China
Nga tulima pamba, tuzaala ne ba designer
Singa twali twazimba oil refinery
Tetwandivunamidde mbeera za ba foreigner
Wabula oli buli bwakufuula begger
Ajja ne mumakago nakukolera amateeka

Twagala nnyo okugenda mu ggulu naye tetwaagala kufa
Twagala nnyo okugagawala naye tetwaagala kutuyana
Twagala nnyo okugenda mu ggulu naye tetwaagala kufa
Twagala nnyo okugagawala naye tetwaagala kutuyana

Kati nze nva waggulu nga mbagamba nti ebyensi ebimu byo byagonda
Bw′oba me ky’okiririzamu okiyimirirangako bwomu nga bw′oli gwe
Era bw’otankulanga olutalo nga wesize mikwano gyo mba nkusaasidde
Bebamu abakujubisa ate nebakulabisa katino osana obegendereze
Kati amazima ga mutima gwo mpozzi na mwana wo
Era mzee yangambye
Labirira family yo omukyaala na baana bo
Manyi nti bangi abakuwagira
But if you stand for the truth you be ready to stand alone, my son
If you stand for the truth you be ready to stand alone
Ayaga yaga yaga yooh

Baagala nnyo okugenda mu ggulu naye tebaagala kufa (be bantu baffe)
Baagala nnyo okugagawala naye tebaagala kutuyana
Baagala nnyo okugenda mu ggulu naye tebaagala kufa
Baagala nnyo okugagawala naye tebaagala kutuyana

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.