Amenvu Lyrics by A Pass

All for one
One one one

Amenvu ogalidde ogamaze mu kibanyi
Nga tukulaba n’ebikuta n’ossa ku bbali
Amenvu amenvu amenvu
Amenvu gali mu colour ya yellow

Wansibye ebigere n’obinyweza
Ate ogamba nzije tugende
N’onsiba emikono akandooya
Ate ogamba tuzanye ebikonde
Nali nkwesize olw’endabika
Nga munda wafuuka gusodde
Wansuubiza omuceere n’ennyama
Mu kuzibula waleeta lumonde

Wannimba laavu oh oh
Ng’omutima gwo mukyafu
Wafuuka bbalaafu oh oh
Ng‘otunula nga lyenvu

Obwavu omugongo onkutula
Sirina eky’okukola
Ewange oyagala okusula
Room ntono naye otunyiga
Enjala enkutte enkeketa
Ompadde swiiti okimala
N’emirembe gyo tegikyanzikusa aaah ah

Wannimba laavu oh oh
Ng’omutima gwo mukyafu
Wafuuka bbalaafu oh oh
Ng’otunula nga lyenvu

Amenvu bagamalawo abamu nga mwebase
tetubaleka bagalye gabatuge
Obuwanguzi bujja yadde buyise
Tetulwana naye tukozese mitwe
Bwe banoonya obululu ne batusuubiza
Bwe batuuka waggulu ne batukookoonya
Ffe bantu ba wansi bemutulugunya
Naye nga biweddewo
Don’t tell me you’re sorry

Read Didadada Lyrics by A Pass

Share Amenvu Lyrics by A Pass

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.

Share this

Newsletter Updates

Enter your email address below to subscribe to our newsletter

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *