Amaka Gabasomyeko Lyrics by Fred Ssebatta

Twali tumanyi Fred
Nti abantu abasomye obulungi
Be baba n’amaka amateefu
Era abawaŋana ebitiibwa
Kati ate ovudde wa okikyuse?
Obufumbo bw’abayivu ng’abo
Olyoke obutuume kwatira awo!
Olimba nnyo nedda nedda

Mulaba mayumba nze mbagamba
Buli ekitemagana tekiba zaabu
Gwe b’obala okuba obulungi
Mwanawattu kya nnaku
Bebateewa mu maka bitiibwa
Be babeera mu kwatakwata
N’amayisa amabi mu baana
Nga n’omukwano tewaba
Eyali munno akuwa ekitiibwa
Nti nze tompansanga kunfuga otyo
Ebivaamu ye kwatira awo
Nga n’omusajja agonze
N’abaana bwe balaba ebyo
Ebiddirira kuba bayaaye
Engeri gye batendekwa mu bukyamu
N’ebibavaamu bya nsonyi njereere

Kitalo bannange
Amaka g’abasomyeko
Ge gawomoggose

Nakyalako mu maka amagagga
Ag’omwami omuyivu George
N’omukazi alina ku nsimbi
Nga n’okuba nga yasoma
Obutabasangawo naweerwa
Kyannyamba nnyo okuyiga enju ezo
Nasangawo obuto obuzannya
Kye nva mbulumba we bwali
Tebwaŋanya nabwo mbutuuke
Kyebwava bunjokya mu mutwe akapiira
Laba eyali omukulu ansambe
Nti trespass otutamye
Saabanenya bwe bali abaana
Ne ninda abakulu okudda
Kko nze kabajje nabwo mbuloope
Nga nsitama awo ku bbali
Mpozzi gye ntenda ntiisa!
Abamanyi ebikonde bajja
Ka nkulage amayumba g’otya
Ne gyotosuubira ssebo etonnya!

Kitalo bannange
Amaka g’abasomyeko ho!
Ge gawomoggose

Twali tumanyi Fred
Nti abantu abasomye obulungi
Be baba n’amaka amateefu
Era abawaŋana ebitiibwa
Naye totunenya kubuuza
Olwo beeyisa batya awaka awo?
Olyoke obijweteke otyo
Mbu n’omwavu abakiza embiibya

Bannange nalaba efujjo
Nga n’ennyumba amadiiro maawule
Kankusese nafuna okwetya
Nga bansitudde mu ntebe
Kali kata omukazi ansuule!
Olwa kkapa ye eyali mu ddiiro
Olwampunyako mu mutima ne nfa
Kyenva ngiwujja omugere
Ky’ava abuuza nti ani akasambye?
Ogiranga ki nga w’eri waabwe?
Neesonyiwa mwattu onviire
Ne gwe wajjiridde akuyita
Nagenda mbunye obuswavu
Ne ntuuka olwo omwami gyali
Namusanga aleze akabwa ke
Ng’akawa chai mu ggama
Ky’ava aŋamba nti sorry bambi
Tuli busy tulindemu awo
Kko nze kaŋume okufuna ebiggya
Ebinaatuyamba okuyiga enju ezo

Kitalo bannange
Amaka g’abasomyeko ho!
Ge gawomoggose

Kitalo nnyo abayivu ng’abo
Nze nabulwayo emboozi ewooma
Nga buli kimu kye beekola awo
Kikwasa nze ku ttama
N’owulira awaka agabuuzo
Agatawooma nno ate mu baana
Buli nsobi etabula ennyumba
Ne batabaaza omukozi
N’abeera ku kwatakwata
Awoza taata gwe mukyamu
Ng’eno bwe bafuuwa oluzungu lw’otya
N’owulira ng’oswadde
Ne ntuuka muli okubuuza
Nti bafuna ddi awaka omukwano?
Nga ku bombi emboozi ewooma
Tekimmanyiira, gulabe
Kye nafunyeyo nze ng’eyakyala
Navumiddwa agavumo mpozzi
Nti bwe tuyinza okubeera naffe
Nafuluma bwe banvuma ebinnyo!

Kitalo bannange
Amaka g’abasomyeko
Ge gawomoggose

Twali tumanyi Fred
Nti abantu abasomye obulungi
Be baba n’amaka amateefu
Era abawaŋana ebitiibwa
Naye obayambye otya mbuuza?
Abantu abayivu ng’abo
Okubeera n’amaka amalungi
Twandisabye nabo obatuuze

Amaka gasaanamu omusajja kuba y’aba asalawo
N’obuyinza bw’olina mukyala busaana kupima
Abakazi abafunye ensimbi mwetwala bulala
Ddala kiki ky’olabye ekipya awo okufutyankuza balo?
Weefudde jogoo mukyala eyajja okufumbirwa
Eddya olifudde kwatira awo tokyamanyi balo
N’omukazi tacungwa bwatyo abaami ababoggoka
Bwabanga n’ensobi mutuuze bisaana mu kaama
Abaana b’otiriboosa otyo olikyejjusa mu dda
N’omugenyi eyazze okukyala maama abeera mugeyi
Ensolo z’oleka mu ddiiro okutukomba ku mimwa
Bw’osanga omwenyinyaze nga nze nkitwala bulala
Kitiibwa ky’ennyumba ennungi kitendwa abayise
Gw’ate okiriddemu ebinyeebwa olabye okugeyengulwa
Abantu abayivu nga mmwe kwetwandirabidde
Lwaki atasomye luzungu akukira okulannama?
Kitiibwa ky’ennyumba ennungi kitendwa abayise
Gw’ate okiriddemu ebinyeebwa olabye okugeyengulwa
Abantu abayivu nga mmwe kwetwandirabidde
Lwaki atamanyi (atasomye) luzungu akukira okulannama?
Kitalo!

Kitalo bannange
Amaka g’abasomyeko
Ge gawomoggose
Kitalo bannange
Amaka g’abasomyeko maama
Ge gawomoggose

Correct lyrics

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.