Bobi Wine Akatengo lyricsBobi Wine Akatengo lyrics

Akatengo lyrics by Bobi Wine
Intro
Judgement to the bandit to kill our people
Serwajja okwota akira nnyinimu entanama
Why do you think ure the first
And last to abuse rights?
Nothing to fear but fear itself
Alright!

Verse I
Twali mu Uganda yaffe
Baatusanga tweyagalira kuno ne bajja
Ne batusalako,
Bajja namagatto gaabwe
Nobusaati obwali buyulise ku migongo
Ne tubasembeza
Baafera bakadde baffe
Ne tubeesiga ne tubakweka mu kapanga
Ne tubafiirira
Baalya ne lumonde waffe
Twali bagagga,
Be baamalawo ente zaffe
Babbye namataka gaffe
Ne gye twali twaziika abantu baffe bajja
Ne babasendawo
Kati bawamba baana baffe
Babatiisa nti buli ayogera wano amazima
Abeera wa kufa
Babakoonye obulenge
Nabamu babasse,
Babasudde mu bitoogo
Batusigamu katengo
Okuggyawo bino naffe
Tubaddize katengo

Check out Ogenda Lyrics by Bobi Wine

Chorus
Abaana ba wano
Temuba na katengo
Ekisibye enkyukakyuka
Ke katengo
Batufuga bumbula lwa katengo
Nga be tutya ate be basinga
Okubeera nakatengo
Abantu ba kuno temuba na kutya
Ekisibye enkyukakyuka kwe kutya
Batufuga bumbula lwa kutya
Nga be tutya ate be basinga
Okubeera nakatengo

Verse II
Baaleeta ne curfew ne tumugondera
Ne bamukozesa okutubba nokutukyunya
Bajja ne mu bufunda ne batukyambuwa
Ngamabbaala gabagagga go mwattu gakola
Obucaali bwa wansi buba buggale
Nga waggulu, bo ebyabwe biba biggule
Laba abaana ba boda bali ku ndere
Tebacacapa, yadde okufuna ku kamere
Bino biriwo lwa katengo
Buno obusajja mwe tebutuzannyira ku bwongo
Bazadde baffe baabuweeka ku migongo
Naye kati ssebo bwo bwabafuula abayungwe
Wabula, njagala mukimanye tebutusobola
Bulidde era bukkuse tebwesobola
Abo be mukubagana be basinga okutya
Nebwotulisa balloon baweta ne batema

Chorus
Abaana ba wano
Temuba na katengo
Ekisibye enkyukakyuka
Ke katengo
Batufuga bumbula lwa katengo
Nga be tutya ate be basinga
Okubeera nakatengo

Interlude
Well this is a special dedication
To all the political prisoners
member, it’s a Dan Magic Production
You dont know
Our nation is being mortgaged
And is we
Thats being used as collateral
So member that

Verse III
Laba obuwumbi bwe beewola
Okulwanyisa obulwadde
Bagula mamundu na teargas
Ate zo ssente ze beewoze
Bwe tuba ba kusasula
Kiritwala myaka nga kinaana
Gye tukoma okutiribira
Gye bakoma okunyagulula
Kiri mu glass
Nti Uganda esobolebwa
Bwoba nga weebase
Kati eno yessaawa osisimuka
Kiri mu glass
Nti Uganda etundibwa

Chorus
Abaana ba wano
Temuba na katengo
Ekisibye enkyukakyuka
Ke katengo
Batufuga bumbula lwa katengo
Nga be tutya ate be basinga
Okubeera nakatengo

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.