Obwedda ntudde wano nga neewuunaganya
Nga neebuuza ebibuuzo ate nga bwe neddamu!
Ssinafuna answer ntuufu eky’okola nkole ntya?
Ganneesibye mikwano ntuuse okuwunga
Buli kye nkola, tekitambula
Nga ndowooza oyo omwana y’eyandya ebirowoozo
N’abawala bangi be bampaanira ssibalabawo
Aah ha, oyo omwana yantamiiza bwenge
Eeh eh eh amusinga tannazaalwa
Aah ha, oyo omwana yantamiiza bwenge
Eeh eh eh amusinga tannazaalwa
Guno omwaka nkwata gwakuna
N’emyezi gyakwo musanvu
Nga ndi wano ntunula mpwangali
Nze neemagaza bwemagaza
Nkeera ku makya ne ninda
Ne buziba ate ne bukya
Nga ssimulabako
Ani anamundeetera?
Carol mugambe
Kale ani anaamuzuula?
Rose munnyambeko
Ani anamundeetera?
Anone cheque ye
Ye ani an’amuzuula?
Apate cash we
Ani anamundeetera?
Nziremu ku maanyi
Ye ani an’amuzuula?
Mmuwe ku byange
Ani anamundeetera?
Wamma mpone
Ye ani an’amuzuula?
Mpone omutima
Ntumye ababaka bangi
Buli avaayo ayogera kikye
N’abasinga obungi
Nti omuwala mmute
Naye bwe nzigyayo ekifaananyi kye yampa
Nze mpulira nfaako
Oyo omwana yantamiiza bwenge
Ntumye ababaka bangi
Buli avaayo ayogera bibye
N’abasinga obungi
Nti omufambe mmuveeko
Naye bwe nzigyayo ekifaananyi kye yampa
Nze mpulira nfaako
Oyo omwana yantamiiza bwenge
Eeh eh eh amusinga tannazaalwa
Aah ha, oyo omwana yantamiiza bwenge
Eeh eh eh amusinga tannazaalwa
Guno omwaka nkwata gwakuna
N’emyezi gyakwo musanvu
Nga ndi wano ntunula mpwangali
Nze neemagaza bwemagaza
Nkeera ku makya ne ninda
Ne buziba ate ne bukya
Nga ssimulabako
Ani anamundeetera?
Ye ani anaamuzuula?
Ani anamundeetera?
Anone cheque ye
Ye ani an’amuzuula?
Anone cash we
Ani anamundeetera?
Nziremu ku maanyi
Ye ani an’amuzuula?
Mmuwe ku byange
Ani anamundeetera?
Wamma mpone
Ye ani an’amuzuula?
Mpone omutima
Ani anamundeetera?
Anone cheque ye
Ye ani an’amuzuula?
Apate cash we
Ani anamundeetera?
Jane mugambe
Ye ani an’amuzuula?
Sarah mugambe
Ani anamundeetera?
Asiya mukwano
Ye ani an’amuzuula?
Mpone omutima
Ani anamundeetera?
Carol mugambe
Check Out: Twetale Lyrics by Eddy Kenzo
Share: Afrigo Band – Yantamiiza Lyrics
📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.