Abayimbi Lyrics by Herman Basudde

Buno obubaka teri mukulu
Ŋamba mmwe bayimbi bennyini
Ngya baawulamu ebiti bisatu nneme obuteekubira
Eriyo abayimbi bennyini
Munno n’ayimba n’ofuna essanyu
Nga by’ayimba abiva ku ntono ate n’abituggiriza
N’olabayo ayimbisa essanyu
N’akusesa wadde bya nnaku
Wadde by’ayimbye mpaawo makulu
Naye nga bambi anyumisa
Kwossa abatulimba bennyini
Nti ayimba sso ddala abuga
Anakola ki ssente yabula ayagala binjulize
Kati omuyimbi kwata ku ttama
Wadde ogwa mu biti ebyo bisatu
Olwaleero mulimu mukulu sigenda kweyimbya
Fred w’owulira nti kuno mbula
Oyanguwako n’olya mu ttama
N’omboggolera nti kati obula yogera ebyakutumwa
Wannondobamu mu maziga
Nga tukaabira ono Kasozi
N’oyogera nnyo nti nkutumye nange saagaana
Naye nga ndi musajja mukulu
Wantuma ebigambo bibiri
Netegese nange kukola ninze ente yange
Bwebeera teriiwo mu mpeke
Gyewole sisaaga mukulu
Olufundikira nsala bulago ngiryeko naawe ate
N’ebirivaamu nga nnyinyuse
Teweekweka tubigabane
Kuba ndi wa kuyimba binene kumpi kwefungulako

Muyungule amaziga kaakati
Tukaabire ku bayimbi abafa
Ne baziikibwa tugambe mu nkola ngiyise ey’ekyama
Abamu baabikwako ku mpewo
Abalala mpaawo yabika
Lwa nsonga tuyimba mu bibuga
Amanyise ewaabwe ani?
Kati nno ekyo kizze ku bbali
Ate odde ku bayimbi bennyini
Kwatulema okuziika yogera ne gye waziika wa?
Kigambo kino abange kikulu
Kuba okufa towaawo magezi
Ensonga eyo twagigabana buli eyagwa mu nsi
Bw’ofa kye bazzaako kubika
N’okkirira eddongo mu nnaku
Wadde oziikiddwa mu bulangiti teri muziike avaayo
Okuziika tekumala na lunaku
Kuba kwa munaana abalala kkumi
N’okeerewamu tebakusasuza oyiwayo bwoti akataka
Ekintu kino kikuba ensonyi
Zitukwata lumu nange kennyini
Tetweziika nsinze mukono ampakanya guugwo tema
Lwa nsonga twabulwa enkola
Munansonyiwa siri muvumi
Naye abayimbi tuli bagezi mu bimu naye ekyo nnyooma
Labayo naawe nkoze Lukiga
Mukaabya n’akola eri e Lusoga
Mbaziira alaga Gomba
Kaakati Fred Kyaggwe eri
Nga Muwaya ekiro lumutema
Wetuddira mu weeks bbiri
Atusanga twekuba sorry kuba tetwaziika
Njagala nsimbe ekkuuli ku luno
Lisimbuka tutuuse ku nkola
Ngya genda mbalaga enziro ate bwe nzisiimuula

Twafiirwa Katende ne Philly
Mutebi, Nampa, Mayanja mu ntebe
Baligidde ku ddene Nakkubulwa Walumbe yetikka
Abaabaziikako nga lubatu
Mpaawo yali azzeeyo kulaba
Buli njole gye twaginyugunya ebyayo gye byaggwera
N’abamu tebafuna mbikwa
Tutegeera tukomyewo kukola
Twerimbira ki eky’obumanyifu nga tufa nootobikwa
Abantu abagezi abaabulwa ensawo
Wadde ekifo nti weewo we tuba
Tuli mu mpalana ntondo na ntalo ekitatuyamba namu
Abasawo abaganda balabe
Bali mu jubilee amasabo nkumi
Beekutte wamu ffe abasomesa obutuulo bwatubula
Abamu n’enzijanjaba ebula
N’atandifudde n’afa obunaku
Tetukwataganye tuli biwagu buli omu waali omu
Tunaafa tutya ebitunyumira?
Tujjanga kufa nga mamese
Enfa embi eyo ani ajigumira aveeyo antangaaze
Nze ŋamba tunoonye amakubo
Ekikutte kw’ani kw’ani kaakati
Ffe abakyaliwo abakyalaba tufe mu kwesiima
Buli ekibeerawo ffe banaku
Ne twekubagiza buli olukya
Tuyimbira ki twokye ku nkoko oba okuyimba kubi
Mu bulamu tuyitamu mu bulumi
Ne mu kufa tufa nga miguya
Tufungizeeko leero ku mpale tulina okwekemba
Teriiyo kya kukola kinene
Kwekuŋŋaanya kyokka kaakati
Tufuuke omu ogenda kulaba ensi bw’etuyanguyira

Okufa tekuliiko mukulu
Buli afudde eba njole kale
Tusaana tukkirize engeri gye tufa ssi yetusaanidde
N’enziika tewa makulu
Sso amannya g’abayimbi manene
Tuyiiyeewo engeri y’enkola enanya okufa kwaffe
Tufune ettaka teriggya kubula
Tulyegulire nga ttaka ddene
Kibe ekiggya bannalukoba nga we tuganzikibwa
Tusseewo engeri y’ensawo
Basudde bw’alwala afune ku mpeke
Bw’aba afudde aziikwe mu ssanyu kubanga twetegeka
N’omulambuzi aliva e Kenya
Asangewo amalaalo bisatu
Abuuzeeko bwe gali nkumu aliwo amutangaaze
Nti abayimbi baffe bwe bafa
Tubassa awo nga basomesa
Kaafiire eri a Kabulangiti naye tumwetikka
Ekintu ekyo kintu kikulu
Kiryewuunyizibwa buli alaba
Ne batendereza bwe tuli bagezi kubanga twakikola
Naye okudda mu bya nnyabo ndabye
Ensi tetubalaamu magezi
Naye muyimbi ki ddala embuzi nga tuli boogi nnyo
Ebintu ebituvaamu makula
Kati ekitubulako nno y’enkola
Tutegeeragana okuneneŋana ssi buvunaanyizibwa
Eky’okulabirako ye Kasozi
Yazaawa tweyozezza obuziro
Era enfa ye n’etunyumira era teyakukkuluma
Weebake mirembe Kasozi
Ffe kati abalamu ku luno
Tulinze ani beffe bennyini teri mulindwa ajja

Abayimbi mutegeere na kino
Sibeesibaako bwesibi nnumwa
Ng’ebyokufuna obitadde ku bbali tulina okwegatta
Njagala olabire ku kino
Abatembeeyi baali banaku
Bwe beegatta akwambuza empale omulage bwoli eka
Agali ewamu ennyama elumwa
Wadde amaawule tegookya mutima
Tugezezzaako okwawula enkola naye ekirungi ki?
Tutambulira mu bwavu na ttima
Ekintu ekikosa ffe kennyini
Ne tufundikira nga tugabanye ennaku etusiiwudde
Kati njawukana oyo mulabe
Tumwegobeko twandifa ennaku
Tukwane kwegatta omuntu mumanyi kufa teyeekubira
Eyantuma teyampa kikomo
Mbadde ngya kwogera nnyo muntamwe
Ntya okwogera byataŋamba siri anti mwana muto
Njogedde ku bigambo bibiri
Okulongoosa embeera mwetuli
N’ekyenjawukana ezzitufudde abanaku zeewalibwe
Tulyoke ensi tuginyumirwe
Ng’omuyimbi waayita akaga
Eby’ensimbi tetubyogera zikyaluka anti zo
Wadde ziyambako nnyo we ziri
Naye zikyaluka buli olukya
N’osigaza banno nnyinyuse ab’eyo mubandabire

Read Ggwanga Ki TASO Lyrics by Herman Basudde

Share Abayimbi Lyrics by Herman Basudde

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.

Share this

Newsletter Updates

Enter your email address below to subscribe to our newsletter

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *