• Write For Us
  • Cookies Policy
  • Privacy Policy
  • Terms and Conditions
  • Advertise with Us
  • Tips
Saturday, June 25, 2022
  • Login
Lyfer
  • Music
  • Lyrics
  • Videos
  • Blog
  • Tech
No Result
View All Result
No Result
View All Result
  • Music
  • Lyrics
  • Videos
  • Blog
  • Tech
Musiclyfer
No Result
View All Result

Abankuseere Lyrics by Herman Basudde

lyfer by lyfer
March 8, 2022
in Lyrics
Reading Time: 6 mins read
0

Enduulu ssikuba ya ppa
Ngikuba lwa musaayi gwange
Sserunjogi oba ogiwulidde
Jangu mwattu twetereeze
Ensonga enkulu mu zonna
Basudde ze nali njogedde
Eno yo tezannyirwako
Yandinyumye kuba mu kyama
Sserunjogi wuliriza nnyo
Okuva mu buto ntabadde mu nsi
Nga nnoonya siringi zaale
Ndyeko ne bwe baatuzaala
Ekirala nga baana bange
Mpozzi n’abakadde baffe
Abagenda bagondagonda
Oly’emyaka egisukkiridde
Ke kadde kati tukyuke
Ffe tufuuke bakadde baabwe
Tukole ne bye baakolanga
Ng’okuuma obulamu bwabwe
Ne nkuyita nkikutegeeze
Nti nze ensi ngituuyanidde
Ebirungi mbirabye byonna
Ate n’ebibi mbiyunguludde
Wadde nze ndiko nno yadde
Ssibalirwa mu baavu ba nnyo
Naye ssirya mmere na bokka
Tukolere ki ku baatuzaala?
Kwe nvudde okubikubuuza
Y’embeera eriwo kati embi
Bwe tukola siringi zaffe
Ziggwawo ku baana baffe
Kiri kisigala kibanja
Sso ne ku nsi tetwandituuse
Oba okufa mu buwere bwaffe
Singa abantu abo baagayaala
Tutwalayo sukaali yekka
Ate anywebwa baana baffe
Be tuzaala nga bwe tutwala
Gye tuzaalwa mu bakadde baffe
Ne nsalawo enkola kati mpya
Nga twongera ku nfuna yaffe
Tuzibikire obutuli bwonna
Obuyitamu siringi zaffe

And Also

Kivumbi King – Salute

Fik Fameica – Lifist Lyrics

Ssiibe mubi kukikugamba
Nti nze ensi ngituuyanidde
N’omutima gw’obutalya omu
Gwe gunsudde mu buyonjo munda
Lowooza bye ngyiye ku bantu
Nga nkozesa amagezi gange
Mwattu naye okusiima kwabwe
Banziramu nti gwakusinga
Nange bwe natuula wansi
Singa gwe nawanga byonna
Ne mbiyiwa nga bidda mu nju
Twandijunye ku bantu bange
Kaakati ndabuukiridde
Ngya genda nvubenga byonna
Twekolere omudaala leero
Gwe otunde omusimbi gwaffe
Ssikulimba muganda wange
Mu buntu ensi ngituuyanidde
Naye nnenya amagezi gange
Kko n’ekisa ekisukkiridde
Kaakati ndikutte bweso
Ettima ndikutte bweso

Kati ettima ndikutte bweso
Ssikyalina munywanyi ku nsi
Gwe mpadde obunywanyi bwonna
Sseruganda bwe twaliyonka
Singa gwe nawanga byonna
Ebyabo abatalisiima
Singa oli bulungi na nnyo
Kuba ne bali bagagga bonna
Singa oba nakuyita dda
N’ofunako we baabiriira
Singa kaakati ssidaaga
Kye naawa bakadde baffe
Anti singa bwe nfuna ettu
Ne mpaayo balye bagejje
Wiiki ejja gwe n’ofuna ettu
Twandijunye ku baatuzaala
Kaakati oba tutegedde
Tuzibikire obutuli bwonna
Obunuuna siringi yaffe
Tuganyulwe mu magezi gaffe

Waliwo ensonga ziizino nnya
Tunyiikule tuzeewalenga
Tugawe ne ku baana baffe
Wabule aligeza ozigwamu
Nkumanyi nnyo amenye nga muntu
Ssi kumanya ngeri zo zonna
N’ettima olina odikwata
Obe mubi ekisukkiridde
Kasita tovuma muntu
N’obiggya lwa bubi oguma tofaayo
Ye omukisa akalungi kye ki?
Okuggyako abamu okuŋoola
Ekirala obutuli bwonna
Obukulukusa siringi zaffe
Ekika kya ppati ow’okubunyweza
Bwe butamanyiirwa bankuseere

Ekyokuna kikulu na nnyo
Katonda ye muganda waffe
Ye Kitaffe nkukuutiridde
Abasigadde balabe baffe
Ng’ebyo tumaze obikwata
Ne tubissa mu nkola yaffe
Katufune olukumi lwokka
Tulilulya tetwekubiira
Ekirala nazaala mangu
Agaana gagunduwadde
Ke kadde akava ku bantu
Ntuuyanire omusaayi gwange
Engeri gye mbawunduludde
Nina kola nnyo okubatuusa
Mbubire bye nkoze bituule
Nga tewali ansokoola kantu
Kuba teri yabantuma ani?
Gabanga masanyu gange
Kaakati oba tutegedde

Kuba tewali yabantuma ani?
Gabanga masanyu gange
Kati nange obutezza wansi
Ebinsomola mbiwemukidde
Kansigaze bakyala bokka
Kuba nabatamiira bwenge
N’omwenge waliyo omugonvugonvu
Kambayite oba kalifoomu
Ate gwe muganda wange
Ssikuwagira bakazi lwasa
Eno ensi yafuukana dda
Nze manyi bwe mbicangacanga

Bino okutuuka obikugamba
Nsoose ne ntunula mu nsi
Nga gye ndaga wazigaladde
Olwa gundi yandaba dda
Ekirala emikwano gyonna
Gikwagala olina ku bintu
Bw’oggwamu tebeetawaanya
Omwavu tayagalibwanga
Kasita ndabuse mangu
Kati nange maze obisansa
Bankyawe naye nga kyokka
Nkyalinawo ebisaamusaamu
Kwe naayongerezanga
Nkuŋaanye obukadde bwange
Matize n’amabujje gange
Ge simanyi muwendo ku nsi
Ekirala kyotakolanga
Atakulumirwa tomulumirwanga
Nkinjigirizza bingi na nnyo
Okuva lwe nava mu kyalo
Bwe nalabanga abatayinza
Ne nkwata emikono gyabwe
Mpanilire bave mu bunnya
Ndowooza naawe wandabanga
Naye ennaku eri mu nkola eyo
Buli eyavangayo mu kinnya
Ne jambo tebaakubanga
Ne ngya nva ku bankuseere
Eddagala tubeewalenga
Nga tukoma ku kubabuuza
Oli otya nti nange gyendi
Biggwere awo mwana wange
Bwagambangako muteese
Nti kino kinkaluubiridde
Oba okimanyi tukwanye
Mweddiremu nti nange bwendi

Ate tolaga nga muntu
Ky’oyinza ne kyotoyinza
Kubanga waaliva okuketta
Nti ono gundi bwati bwali
Wefuulanga mutawuuna
Gundi kiri kitya nti ky’ekyo
Ssebo tewekkiriranyanga
Ly’eddagala eriwangula ensi

Abalogo batye mu buntu
Naye nga tobatya mu mwoyo
Wefuule atazannyirwako
Teri alina buyinza ku nsi
Omulogo alikuggya mu nsi
Amalanga kukola muntu
Yakanganga n’okuba empi
N’ogonda omuwonderenga
Naye nga tamanyi mutonda
Tagezanga akutiisetiise
Mbiyigidde mu bankuseere
Mwe mbadde ebiseera byonna
Ye singa nalabuka dda
Singa ndi bulungi na nnyo
Naye nalwawo muntu wange
Abantu abo tebategeera
Obuntu bulamu buyamba
Naye nsaba obukozesenga
Ng’oziika bafu ku kyalo
Kuba omufu aba tategeera
Ku balamu togwirananga
Siggwe obeera wabazaala
Ne Katonda ojja kumunyiiza
Ng’oyamba be yamma byonna
Ojja kuba omunyoomeredde
Omukolera pulogulaamu
Ye be yasalawo bajeere
Gwe ate n’obapangira ensi
Ekyo nkikukuutiridde
Kuba ekisa kye nakolanga
Kyanfuula muddu mu bantu
Kasita naawe wandabanga
Ebintu bye nkugamba byonna
Nabiraba tebyali bya mbu
Nabiraba mu bankuseere
Abokukyalo bunkuseere
Kati munnange tuuyananga
Entuuyo otuuke ozikomba

Kati munnange tuuyananga
Entuuyo otuuke ozikomba
Ng’obutuli obuzibikidde
Obunuuna siringi zaffe

Kyokka abankuseere
Abokukyalo bunkuseere
Guma tube e Kabulabuntu
Ng’okutte olw’e Kalyabokka
Kyokka abankuseere
Ku bunkuseere
Guma tube e Kabulamuntu
Ng’okutte olw’e Kalyabokka

Ne kino ngya kikugamba
Ebiyiise tobikaabiranga
Tuli bagagga mwana wange
Kasita tuva ku bankuseere
Tabbu ebadde bankuseere
Ekiramu kuva ku bankuseere
N’akatono oli wa kalyanga
Ng’emmeeme ekutebenkedde
N’akatono tuba twerimba
Nze amaanyi nina tofaayo
Ngya kuvuba Buganda yonna
Buli awali ekiyanjayanja
N’ebidiba ndi wa bizinda
Ne mu nzizi namwo ntalaage
Ne migga eminene gyonna
Nsoonsekemu amalobo gange
Kati ndaba ate we siridda
Ng’entala ndi mu nkumi nnya
Ekizibu abazeeyi baffe
Ekyo tuliba tukyerabidde
Gwe engalo ziwagale nnyo
Ez’okubala omudidi gwaffe
Kye nvudde nzija tuteese

Engalo ziwagale nnyo
Ez’okubala omudidi gwaffe
Kye nvudde nzija tuteese
Wekka gwe nina okigamba
Kati naawe tetenkanyanga
Ng’oleeta plan zonna
Kasita oluggi ndugudde
Gwe onooba ongayaaliridde
Laba ate bw’awuniikiridde!
Sisimuka nkulaze byonna
Kufungiza manyi nti kyokka
Ky’ekisigadde twetereeze
Olyoke ogiwoomerwe ensi
Okakase nti munkuseere
Ne bannansi abankuseere
Baali banoonya kutta muntu
Ate n’e Kabulamuntu
Teri mulala yali alimyeyo
Bayitamu buyisi bonna
Abasuubula eyo e Kalyabokka

Kaakati kye manyi otegedde
Sserunjogi muganda wange
Teri mulala wa kukigamba
Gwe osaana bwe twaliyonka
Kati no mwattu bw’olabanga
Ng’eyali aseka tawuuna
Bw’azzaayo olutambi lwe emabega
Yejjukanye gye lwayitanga
Omulala muba mutudde
N’abalula akakule yekka
Mwattu taba mugwenyufu oba
Abeera awuniikiridde
Ng’emmotoka zikubye bantu
Abangi kye manyi tabaawo
Guno guba mubiri gwokka
Ng’omwoyo guli eyo mu nsi
Nalabako omulala ng’alya
Bwe yagenda okukoza kyokka
Yakoza mu ttaka laba ensi
Nze ne nseka nti tategeera
Mangu nnyo ne ku gwe bw’oba
N’ebirowoozo mwana wange
Naddala ebiva ku kyeyo…

Read Ekiryo Nomuwafu Lyrics by Herman Basudde

Share Abankuseere Lyrics by Herman Basudde

Tags: Herman Basudde Lyrics
Share1Tweet1Send
Previous Post

Ekiryo Nomuwafu Lyrics by Herman Basudde

Next Post

Ennimiro Yokubuganga Lyrics by Herman Basudde

YOU MAY LIKE

Lifist by Fik Fameica

Fik Fameica – Lifist Lyrics

by lyfer
16 hours ago
0

Lifist Lyrics by Fik Fameica IntroOh my God Bomba make my beatIn my city, party is a must...

Nkaaba Mpola Lyrics by Dr. Tee

Nkaaba Mpola Lyrics by Dr. Tee

by lyfer
18 hours ago
0

Dr. Tee - Mpola Lyrics Hmmmm, hmmmmAaaah, aaahHmmmmm, hmmmmmKann Records Amaziga g’omunaku kutiiriikaWabeerawo afunyemu kw’olwoEnnaku yange okubulwa ssenteYo...

Ready - John Blaq ft Bwiza

Ready Lyrics by Bwiza ft John Blaq

by lyfer
2 days ago
0

Ready Lyrics - Bwiza ft John Blaq IntroAya basRonnie (Bwiza)HeyHave you ever been in sorrow?Nzineza ko igisubizo ari...

Ready Lyrics by Bwiza

Ready Lyrics by Bwiza

by lyfer
2 days ago
0

Bwiza - Ready Lyrics HeyHave you ever been in sorrow?Nzineza ko igisubizo ari yegoFrom now on ubybagirweI had...

Next Post

Ennimiro Yokubuganga Lyrics by Herman Basudde

Leave a Reply Cancel reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Trending

Kivumbi King - Salute

Kivumbi King – Salute

June 25, 2022
Lifist by Fik Fameica

Lifist by Fik Fameica

June 24, 2022
Stream and download One Bite by Vinka Mp3

Vinka – One Bite

June 24, 2022
Image Credits: Rosdiana Ciaravolo / Getty Images

Khaby Lame dethrones Charlie D’Amelio as the most-followed TikTok creator

June 24, 2022
Nkufeelinga by Ykee Benda ft Chembazz

Nkufeelinga by Ykee Benda ft Chembazz

June 23, 2022
Castro - Bone shaker (Sweetie darling)

Castro – Bone shaker (Sweetie darling)

June 22, 2022
Load More

Follow us

Follow us on Twitter

About

Musiclyfer is a media platform used to promote and deliver Ugandan music, videos and music content. Providing content from over 30 African countries, it is one of the most visited music websites in Uganda.

Recent Posts

  • Kivumbi King – Salute
  • Fik Fameica – Lifist Lyrics

Categories

  • Blog
  • Kenya
  • Lyrics
  • Music
  • News
  • Profiles
  • Relationships
  • Rwanda
  • Trash
  • Videos

Socials

  • Write For Us
  • Cookies Policy
  • Privacy Policy
  • Terms and Conditions
  • Advertise with Us
  • Tips

© 2022 Musiclyfer, All Rights Reserved.

No Result
View All Result
  • Music
  • Lyrics
  • Videos
  • Blog
  • Tech

© 2022 Musiclyfer, All Rights Reserved.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In