Jamal – Abakyala Bazira Lyrics

Yeah yeah
Yeah yeah yeah, wo
This is, another love story
Eh, eh

Abakyala mbayita bazira
Kuba be bagumira ebisinga
Ne baguma aah, ne basirika
Nze mbayita bazira
Eh wamma muli bazira, yeah yeah
You’re my heroes, yeah yeah yeah

Abakyala mbayita bazira
Kuba be bagumira ebisinga
(be bagumira ebisinga)
Ne baguma aah, ne basirika
Nze mbayita bazira
Eh wamma muli bazira, yeah yeah
They’re my heroes, yeah yeah yeah

Ne bukya nti bamugobye
N’ebbanga ly’abadde amaze mu bufumbo
Mbu n’ezzadde balimulesezza
Anti talinaayo kika
Kyokka nga n’obudde buweddeyo
Abamulaba be batono
Gwe obeera oyo omuyita otya?
Aah, yeah yeah ooh oh!

Ebimu mbiraba mu ndongo
Babakwabula ne bamala ne babata
Ekyo kibaluma ne basirika aah, yeah yeah
Abakazi battu balina ennaku, etasangika
Ekyo ky’ekibafuula abazira
Kuba era bamala ne baguma, wo wo!

Uuh yeah
Bameka be bagukase
Omukwano ne basirika?
Ndaba batono
Abavaayo ne beerwanako
(ne beerwanako)
Nze mu kulaba kwange
Abo ba maama mbayita bazira
Uuh yeah, beebo abatatya kuswala
Ne bavaayo mu lwatu, yeah
Beebo ba hero bange, yeah
Beebo ba hero baffe, yeah
Beebo abatatya kuswala, yeah
Ne bavaayo mu lwatu, yeah
Beebo ba hero bange, yeah
Beebo ba hero baffe
Ababeerawo, yeah ooh oh

Ne baguma
Ne basirika
Wo wo wo
Nze mbayita bazira
Mbayita bazira
Mbayita bazira
Bazira abo
Yeah yeah
Ne baguma
Era ne basirika, eh
Mbayita bazira abo
Eeh eh

Read Sooka Osabe Lyrics by Jamal

Share Abakyala Bazira Lyrics by Jamal

📣 Do you find Musiclyfer useful? Follow us on Facebook(@musiclyfer) and stay updated.

Share this

Newsletter Updates

Enter your email address below to subscribe to our newsletter

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *